KCCA 29 – 40 Prisons
UCU 25 - 26 Police
NIC 45 – 23 UPDF
Mu kibinja eky’okubiri
TLC 26 – 37 Maroons
Kawempe 29 – 36 Police Young
SIZONI empya eya liigi y’eggwanga ey’okubaka yazzeemu okutojjera ku Lwomukaaga era bakirimaanyi ababiri aba Prisons ne NIC ne batandikira we bakoma okujojobya abalala.
Bakyampiyoni b’omwaka oguwedde era abaakawangula n’ekya kirabu z’amawanga g’Obuvanjuba bwa Africa, aba Prisons kampeyini y’okweddiza ekikopo bagitandise na kuwuttula bawala ba Jeniffer Musisi, aba KCCA ku ggoolo 40-29 mu kisaawe e Namboole.
Mu gwazzeewo , Police yaggyeeyo n’agomu buto okwetaakuluza ku UCU gye yasinzizza ggoolo emu yokka bwe yabadde egiwangula 26 ku 25.
Kaweefube w’okweddiza ekikopo ekyabasuuzibwa Prisons, NIC yagitandise na kuwangula UPDF ku ggoolo 45 – 23.
Ate abajaasi b’eggye ly’eggwanga erya UPDF abakuba enkambi mu kisaawe e Namboole baasoose kujja mu bungi era ne bakubira bannyinaabwe enduulu ey'oluleekeleeke nga battunka ne NIC wabula baagenze okulaba nga ttiimu gye bazannya ebayinze ne batandika mpolampola okwebulungulula omu ku omu.
Olw’okwagaala okwongera okuvuganya n’okulinnyisa omutindo mu liigi kibayambeko okusikiriza basiponsa okujja okussaamu ensimbi, liigi yakutuddwaamu ebibija bibiri; ekya bakirimaanyi n’ekya wansi era emipiira ebiri gye gyazannyiddwa mu liigi y’ekibinja kya wansi.
TLC yakubiddwa Maroons 37-26 ate ttiimu y’ekitongole kya Poliisi ey’abato n'ekuba Kawempe 36-29.