TOP

Cranes etandise okwetegekera Botswana mu z'Afrika

By Hussein Bukenya

Added 24th May 2016

WADDE abazannyi ba Cranes abeeyanjudde mu kutendekebwa baabadde batono, tekyalobedde mutendesi Micho Sredojevic kubawa kutendekebwa kwa kaasammeeme.

Malawo 703x422

May 31 mu gwomukwano:

Zimbabwe- Uganda

June 4 mu z’okusunsulamu ez’Afrika:

Botswana- Uganda

WADDE abazannyi ba Cranes abeeyanjudde mu kutendekebwa baabadde batono, tekyalobedde mutendesi Micho Sredojevic kubawa kutendekebwa kwa kaasammeeme.

Jamal Salim, Farouk Miya, Murushidi Juuko, Hassan Wasswa n’omuzibizi Denis Guma beeyanjudde mu kutendekebwa okw’emirundi ebiri kwe baakoze eggulo.

Baasoose ku giimu ya Paradise Fitness ku Acacia e Kamwokya gye baamaze essaawa emu n’ekitundu nga basitula ebyuma ate oluvannyuma Micho n’abatwala mu kisaawe e Lugogo nayo ne bamalayo essaawa nnamba ng’abawa obukodyo ku ngeri gye bayinza okugabamu omupiira mu bwangu.

Micho yategeezezza nti okuwangula Botswana abazannyi balina okubeera fi iti ate nga bakolera wamu.

Cranes bw’eba yaakuyitamu okuzannya ez’Afrika omwaka ogujja e Gabon, erina okuwangula omupiira guno .

“Omupiira guno gwegututeeka mu kintu era tugenda kugukwata n’obwegendereza kuba tugwagalamu buwanguzi bwokka,” Micho bwe yategeezezza eggulo.

Micho yagumizza Bannayuganda nti alina abazannyi abasobola okuziba eddibu lya Denis Onyango ne Moses Oloya singa abasawo bategeeza nti tebasobola kuzannya mupiira guno.

Onyango owa (Mamelodi Sundowns, South Afrika ne Moses Oloya (Binh Duong,Vietnam) baafunye obuvune nga bazannyira ttiimu zaabwe.

Emma Okwi, Kizito Luwagga ne Geoffrey Massa basuubirwa okwegatta ku ttiimu leero. Melvyn Lorenzen okuva e Girimaani eyayitiddwa ku Cranes yatuuse eggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi