TOP

NCS esiimye Bassa Muvule

By Musasi wa Bukedde

Added 27th May 2016

NCS esiimye Bassa Muvule

Nc1 703x422

Omuggunzi w’ebikonde eby’ensimbi David Basajjamivule agambye nti ayagala kuyunga eddibu bwe yalemwa okukiikirira eggwanga mu mizannyo gya Olympics nga kino waakuliraga n’okuwangula omusipi gw’ensi yonna ogw’ebikonde.

Bino Basajjamivule abyogeredde Lugogo ku kitebe kya NCS bw’abadde akwasa akakiiko ako omusipi gwa World Boxing Federation (WBF) ogw’obuzito bwa Light Heavyweight gwe yawangula nga April 16 ng’akubye Kheri Mbaruka owa Tanzania K.O mu lukontana olwokuna ku Sheraton Hotel.

“Njagala kusooka kutaasa ngule eno olwo ndyoke nsomooze ey’ensi yonna omwaka ogujja. Wadde saafuna mukisa kugenda mu Olympics, njagala kulaga eggwanga nti nnina talanta mu nguumi,” Basajjamivule bw’ategeezezza. Abadde n’endala gye yawangula mu October ku Hotel Africana nga ya East and Central Africa.

Ye ssabawandiisi wa NCS, Nicholas Muramagi bw’abadde akwasibwa engule eno agambye nti NCS erabye omugaso gw’engule zino kubanga ebikonde gwe gumu ku mizannyo egitumbula eggwanga n’ajjukiza ebya Floyd Mayweather ne Manny Pacquiao ebyateeka abantu mu nsi yonna ku bunkenke mu January omwaka guno. Muramagi asuubizza okwongera okuyamba Basajjamivule mu ntegeka ze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo