TOP

Abazannyi b'obusaale bagudde mu bintu

By Musasi wa Bukedde

Added 27th May 2016

Abazannyi b'obusaale bagudde mu bintu

Ar1 703x422

Richard Asiimwe nga ye Pulezidenti w’ekibiina ekivunanyizibwa ku muzannyo gw’obusaale ekya Uganda Archery Federation agambye nti oluvannyuma lw’okuweebwa ebikozesebwa mu muzannyo guno okuva mu kibiina ky’ensi yonna ekya World Archery, Uganda kati esobola okuvuganya mu mpaka eziri ku mutindo gwa Olympics.

Agambye nti Uganda teyasobodde kuvuganya mu zakusunsulamu abanaazannya mu Olympics e Rio lwa butaba na busaale bwa mulembe nga kati batunuulidde mizannyo egiddako egya Commonwealth Games egya 2018 ne Olympics 2020 mu Japan.

Ssabawandiisi wa NCS, Nicholas Muramagi asiimye ekibiina kino okuba ekimu ku 17 ebimaze okutuukiriza ekiragiro kya gavumenti okwewandiisa.

NCS kye kyasasudde ensimbi obukadde munaana ez’emisolo okufuna ebikozesebwa bino okuva mu URA. Omuzannyo guno gubaddewo mu Uganda okuviira ddala mu 1990 wabula gubadde guddiridde.

Uganda yeegasse ku South Africa ne Namibia okuba amawanga World Archery ge kiwadde obuyambi. “Tufunye ebintu ebibalirirwamu obukadde 40.

Tubadde tetulina ssente zisasula misolo okutuusa NCS lwe baasasudde. Kati tugenda kubunyisa muzannyo mu ggwanga era tukizudde nti tusobola okutandika okwekolera obusaale buno,” Pulezidenti Asiimwe bw’ategeezezza. Uganda yawangudde Rwanda mu z’omukwano mu January nga mu July bagenda kuzannya Kenya okutandika okufuna obubonero bw’ensi yonna.

Abazannyi bana okuva mu Africa ng’omu Munnakenya be bagenda okuzannya mu Olympics za Rio 2016. Uganda yeetaba mu Archery mu Olympics e Sydney mu 2000 nemu New Delhi 2010 Commonwealth Games mu India.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta