TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Abalongo bacankalanyizza ttiimu 3 lwa kufaananagana! Abawagizi balwana

Abalongo bacankalanyizza ttiimu 3 lwa kufaananagana! Abawagizi balwana

By Nicholas Kalyango

Added 29th May 2016

NG’EMPAKA z’amasaza zikyagenda mu maaso n’okutojjera ku bisaawe eby’enjawulo, NICHOLAS KALYANGO akuleetedde abalongo abazannyira Buluuli abazannyidde ttiimu ez’enjawulo ne zicankalana olw’okufaanagana.

Longo1 703x422

Abalongo Wasswa ne Kato

NG’EMPAKA z’amasaza zikyagenda mu maaso n’okutojjera ku bisaawe eby’enjawulo, NICHOLAS KALYANGO akuleetedde abalongo abazannyira Buluuli abazannyidde ttiimu ez’enjawulo ne zicankalana olw’okufaanagana.

FRANK Kato ne Godfrey Wasswa Kizannyiro balongo abavuddeko okucankalana mu ttiimu ez’enjawulo olw’abawagizi n’abakungu okulemwa okubaawula.

Mu kaseera kano bazannyira ssaza lya Buluuli kyokka nga mu tiimu ze bayiseemu bazze babulako katono okuvaako emipira okuyiika anti Wasswa bw’azannyira ttiimu eno n’afuna obuvune, oba n’atasobola kuzannya, oguddako Kato y’azannya wadde ng’abeera takkirizibwa mu mateeka kuzannya.

Baasooka kutabula bawagizi ba mpaka za butale mu 2013, Wasswa bwe yali mu Matooke FC nga Kato azannyira mu Nkoko FC.

Lumu bajja nga buli ttiimu erina omupiira kyokka abakungu ba ttiimu zombi ne batandika okukaayana nga Matooke FC ekaayanira Kato mu kifo kya Wasswa eyali omuzannyi waayo. Gye byaggweera, nga Kato azannyidde Matooke mu kifo kya Nkoko ate nga ne Wasswa azannyidde Nkoko FC mu kifo kya Matooke.

Wadde ng’abategesi baamala ne kitegeera nti abazannyi bombi bazannnyidde ttiimu ezitali zaabwe, omusango gwabalema okusala.

Mu 2014, mu mpaka z’akeedi, waabaluka olutalo olulala wakati wa Kati Kati FC ne Mukwano FC nga lwava ku buli ttiimu okuba na kifaananyi ky’omu ku balongo wabula ne balemwa okusalawo ani y’ani. Kino kyaviirako bombi okuva mu mpaka olwa ttiimu zombi okulemwa okukkaanya ku ani alina okuzannyisa muzannyi ki.

 asswa mu byeru ngattunka nowa ulemeezi mu mipiira gymasaza Wasswa (mu byeru) ng’attunka n’owa Bulemeezi mu mipiira gy’Amasaza.

 

Mu mpaka z’abali wansi w’emyaka 17 eza Airtel mu 2014, abalongo bombi baampimwa kyokka ekyewuunyisa, ekyuma kyalaga nti Wasswa yali asussa emyaka 17 egyali gikkirizibwa mu mateeka era n’agobwa mu mpaka Kato n’ayita.

 mutendesi isegerwa Omutendesi Kisegerwa

 

Wabula ttiimu ye eya KJT kye yakola kwe kuzannyisa Wasswa omuteebi kubanga gwe baali beetaaga ennyo.

ABALONGO KYE BAGAMBA:

Kato: Mikwano gyange gye gyanjagaza okuzannya omupira kubanga baatutwala nga ku bisaawe nga tukyali bato era okuva olwo omupiira ne gunnyingira.

Eky’abantu okuba nga bakaluubirirwa okunjawula ku Wasswa sikirinaako buzibu era sisobola ‘kubuusa’ oyo gwe nfaananidde Wasswa.

Bw’aba alina kye yateesezza naye (Wasswa), nsobolera ddala okukikola n’atamanya nti Wasswa si y’akikoze.

Ndi muwuwuttanyi era nga nnegomba Adreas Ineista owa Barcelona kuba engeri gy’akubamu paasi nsuffu.

Wasswa: Ndi muteebi era nneegomba eyali emmunyeenye ya Arsenal ne Bufaalansa, Thierry Henry, olw’engeri gye yakubangamu ggoolo ku ne sipiidi.

Bwe nalabanga abazannya omupiira nange ne nfuna ekinyegenyege okuguzannya. Si gwe mulundi ogusoose okuwulira nti abantu tebatwawula.

Bwe twali ku KJT, omutendesi waffe yennyini yalemwa okutwawula. Yali ayagala kuleeta Kato omuwuwuttanyi, kyokka n’ayingizaamu nze omuteebi. Nali sisobola kugaana kuba Kato by’akola nange mbisobola.

Twewa ekitiibwa era tetusobola kwagala ku muwala omu ne bw’aba ng’omu ku ffe yamukyawa dda.

OMUTENDESI WAABWE AYOGEDDE:

Yunus Kisegerwa eyabatendekako mu KJT agamba nti baamubuzabuzanga era oluusi ng’awalirizibwa okubatandisa bombi asobole okwawula gw’abadde ayagala mu kisaawe nga batandise okusamba.

 nalongo amutebi Nnalongo Namutebi

 

Mu butuufu bwe twafunira abaana bano mu KJT baatusumbuwanga okwawula wabula kye sigenda kwerabira lwe baagaana Wasswa okuzannya mu za Airtel kyokka olw’okuba gwe twali tusinga okwetaaga, ne tutuuza Kato ate abategesi ne batamanya.

Ebbanga lye mmaze nabo sibafunangamu buzibu ng’oggy-eeko okukaluubirirwa okubaawula.

NNAALONGO KY’AGAMBA:

Nnaalongo Hasifah Namutebi ow’e Zanna agamba nti; Mu kusooka saayagala baana bano bazannye mupiira kyokka olw’okuba nali sirina ssente zibatwala ku ssomero ate nga baabawa bbasaale, nawalirizibwa okubaleka.

Ekiseera kyatuuka nga baagala kwegatta ku ssomero lya St Marys’ Kitende kyokka bannange ne bang’amba nti abaana b’e Kitende tebasoma basiiba mu kuzannya mupiira.

Wabula namala ne nzikiriza kyokka kyammalamu amaanyi S4 bwe bataagiyita bulungi. Kino kyaviirako Wasswa okugaana okuddamu okusoma wadde nga munne ye yagenda n’asoma S5 kyokka naye yamala n’abivaako.

Eky’abantu obutabaawula nkiwulira naye nze mbaawulira ku maloboozi ekirala Kato mwogezi nnyo okusinga ku Wasswa ateewa bantu.

Abalongo bano baazaalibw nga August 20, 1998 nga kitaabwe ye Ssaalongo Yusuf Samuel Kizannyiro. Omupiira baagutandiika ku myaka 5 mu akademi ya Bunnamwaya Young.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!