TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ebya Malvyn okuzannyira Cranes bifuuse nnamulanda!. Tannafuna paasipooti y'e Uganda

Ebya Malvyn okuzannyira Cranes bifuuse nnamulanda!. Tannafuna paasipooti y'e Uganda

By Hussein Bukenya

Added 29th May 2016

EMIKISA gya Malvyn Lorenzen ow’e Girimaani okuzannyira Cranes ku mupiira gwa Botswana gikendedde, oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa okugaba paasipooti mu Uganda okubategeeza nti okumuwa paasipoot balina kusooka kufuna lukusa kuva mu gavumenti ya Girimaani.

Lyn 703x422

Malvyn Lorenzen

Bya Hussein Bukenya

Lwakubiri mu gw’omukwano:

Zimbabwe - Uganda

Lwamukaaga mu z’Afrika:

Botswana - Uganda

EMIKISA gya Malvyn Lorenzen ow’e Girimaani okuzannyira Cranes ku mupiira gwa Botswana gikendedde, oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa okugaba paasipooti mu Uganda okubategeeza nti okumuwa paasipoot balina kusooka kufuna lukusa kuva mu gavumenti ya Girimaani.

Omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic yayita Melvyn azannyira mu Werder Bremen eya Girimaani kyokka ng’alina obutuuze mu Girimaani kuba gye yakulira ng’okuzannyira Cranes alina kusooka kufuna paasipooti ya Uganda.

Emisoso gyonna FUFA n’ab’ehhanda za Malvyn babadde bagitwala bukwakku kyokka kalumanywera we yavudde kwe kutuuka ku ofiisi ezivunaanyizibwa okugaba paasipooti ne bakabatema nti balina kusooka kufuna lukusa okuva e Girimaani kuba mu kaseera kano be bamuvunaayizibwako.

Ensonda ezeesigika mu FUFA era ziraga nti ssinga kino kikolebwa ate FUFA erina okukwatagana n’ekibiina ekiddukanya omupiira mu Girimaani kuba nakyo kirina okukkiriza omuzannyi ono.

Ku Lwokuna, FUFA yasindise omukungu wa FUFA ku kitebe kya Girimaani mu Uganda okufunira omuzannyi ono empapula mu bwangu kyokka ne babategeeza nga bwe kiyinza okutwala akaseera akawanvuko okubimaliriza.

Kino kyayongedde okukendeeza ku mikisa gy’omuwuwuttanyi ono okuzannyira Cranes ng’ettunka ne Botswana mu z’okusunsulamu abalyetaba mu mpaka za Afrika omwaka ogujja e Gabon.

Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein yategeezezza nti ensonga za Malvyn bazikolako era balina essuubi nti omupiira we gunaatuukira zijja kuba ziwedde.

“Amakubo ge twayiseemu geego amatuufu era tulina essuubi ddene nti Malvyn agenda kufuna paasipooti mu budde,” Ahmed Hussein bwe yategeezezza.

CRANES ESITULA LEERO:

Ekibinja ky’abazannyi 15 leero (Ssande) basuubirwa okusitula okwolekera Zimbabwe gye bagenda okuttunkira ne bannyinimu mu mupiira omutendesi Micho gw’ayagala okugezeserezaako abazannyi be nga tebannattunka ne Botswana nga June 4.

Abazannyi abagenda kuliko; Jamal Salim, Murushid Jjuuko, Hassan Wasswa, Godfrey Walusimbi, Emma Okwi, Joseph Ochaya, Denis Guma, Kizito Luwagga, Khalid Aucho ne Davis Kasirye (azannyira mu Rayon Sport) eya Rwanda.

Abalala; Geoffrey Massa, Malvyn, Idris Lubega, Erisa Ssekisambu ne Farouk Miya. D. Onyango, R. Odongkara, I. ISinde, T. Mawejje ne Y. Mugerwa baakusangibwa Zimbabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...