TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Emisinde gya Afrika Mashariki gibakamudde akatuuyo

Emisinde gya Afrika Mashariki gibakamudde akatuuyo

By Silvano Kibuuka

Added 29th May 2016

Emisinde gya Africa Mashariki egy’omulundi ogwokubiri gikamudde abaddusi entuuyo nga gisimbudde n’okumalira ku kisaawe e Kololo.

Athletics2ndafricamashariki2 703x422

Abamu ku baddusi abeetabye mu misinde gya Africa Mashariki e Kololo May 29 2016. (ekif: Silvano Kibuuka)

Abawangudde emisinde gya Africa Mashariki:

Abasajja Kiromita 21:

1.Isaac Nsungu (Uganda) 1:47.32

2.Robet Okudi (Ug) 1:47.44

3.Cheng Daxia (China)

Abasajja Kiromita 10:

1.Tirabun Simuabebe  29:30

2.John Kateregga

Abakasi Kiromita 21:

Kristen Schwelger

Abakazi kiromita 10:

Beatruce Kimeta (Kenya)

Emisinde gya Africa Mashariki egy’omulundi ogwokubiri gikamudde abaddusi entuuyo nga gisimbudde n’okumalira ku kisaawe e Kololo.

Abaddusi abasoba mu 300 be beetabye mu misinde gino mu mitendera, ogwa kiromita 21, 10 n’emu mu bato abali wansi w’emyaka 12.

Egya kiromita 21 giwanguddwa Munnayuganda Isaac Nsungu mu ssaawa 1:47.32.

Omwogezi wa Palamenti ya East Africa, Daniel Kidega owa Uganda y’abadde omugenyi omukulu ku misinde gino n’agamba nti wadde tegijjumbiddwa ng’egyasooka, abantu basaanye okwongera okugijjumbira omwaka ogujja kubanga ekigendererwa kyagyo kugatta bantu ba East Africa mu ngeri zonna.

Agambye era nti amawanga ga East Africa gasaana okussa bbajeti ennene mu mizannyo kubanga gyafuuka gya byanfuna mu nsi yonna nga gitumbula n’obulambuzi.

Asabye abavujjirizi bongere ensimbi mu mizannyo.

bamu ku bakungu abaabadde ku misinde gya frica ashariki egyokubiri e ololo kuva ku kkono ye aj en eoffrey kanga ku kitebe kya enya mu ganda minisita wa ganda mu alamenti ya ast frica aniel idega ames kena eyaliko ulezisenti wa  esica riyo omubaka wa ganda mu alamenti yaast frica ne adaraka yerere mutabani weyali ulezidenti wa anzania ulius yerere ekifilvano ibuuka Abamu ku bakungu abaabadde ku misinde gya Africa Mashariki egy'okubiri e Kololo. Okuva ku kkono ye Maj. Gen. Geoffrey Okanga ku kitebe kya Kenya mu Uganda, minisita wa Uganda mu Palamenti ya East Africa Daniel Kidega, James Akena eyaliko Pulezisenti wa UPC, Jesica Eriyo omubaka wa Uganda mu Palamenti yaEast Africa ne Madaraka Nyerere mutabani w'eyali Pulezidenti wa Tanzania Julius Nyerere. (ekif:Silvano Kibuuka)

 

Wabula abaddusi bangi basigadde beevuma entegeka y’omulundi guno nga bagamba nti tebaaweereddwa bukuumi ku bidduka, bangi babuze ne ababadde ab’okudduka kiromita 21 beesanze bayingidde eze 10 lwa butabaawo bategesi mu bitundu bingi.

Abeegasse ki sipiika Kidega ku misinde gino mwe muli omumyuka we Jesca Eriyo, omubaka wa Kenya mu Uganda, Maj. Gen. Geoffrey Okanga, Jimmy Akena, mutabani w'eyaliko Pulezidenti wa UPC, omugenzi Apollo Obote, wamu ne mutabani w’omugenzi Dr. Julius Nyerere  ayitibwa Madaraka Nyerere.

“Entegeka ze twabadde nazo ne Poliisi naddala okutangira ebidduka zaakyusiddwa ku ssaawa esembeyo aba Poliisi bwe baaweereddwa emirimu egy’embagirawo nga gavumenti ekyaza abakulembeze b’amawanga agatali gamu,” Ronnie Kisembo akulira Africa Mashariki bw’ategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda