TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Golola afuntudde Munnakenya n'acamula Bannamityana

Golola afuntudde Munnakenya n'acamula Bannamityana

By Silvano Kibuuka

Added 30th May 2016

Moses Golola acamudde Bannamityana bw’awangudde Munnakenya Waina Yina mu bikonde eby’ensimbi ku ggombolola ya Busimbi mu kiro ekikeesezza Mmande ku bubonero 120 -108 mu nkontana 4.

Kuba 703x422

Ebivudde mu bikonde:

Moses Golola 120 (Ug) Waina Yina (Ken) 108

Ebyasoose:

Rogers Semitala akubye Jawal Kalenzi K.O

Moses Golola acamudde Bannamityana bw’awangudde Munnakenya Waina Yina mu bikonde eby’ensimbi ku ggombolola ya Busimbi mu kiro ekikeesezza Mmande ku bubonero 120 -108 mu nkontana 4.

Kati Golola alina ennwana 4 zonna z’awangudde ng’agamba nti ayagala kusoomooza ngule ya ggwanga omwaka guno.

Oluwangudde era n’atongoza ettendekero ly’enizannyo erya 'Golola Talent Academy' e Mityana ng’alitadde mu mikono gy’abatuuze era omubaka wa Palamenti, Godfrey Kiwanda n'asuubiza okuba omusaale okutumbula ebitone bya bamusaayimuto mu mizannyo guno.

Azzaako Mubende nga June 25.

Agambye nti tagenda kukoma ku bikonde na nsambaggere wabula n’emizannyo emirala nga Karate, Tae Kwondo n’emirala naddala egizannyibwa mu Olympics.

Akoowodde ebitongole okwegatta ku Rock Boom, Fran Horizion, Hon. Godfrey Kiwanda ne Franses Ddungu okutumbula academy z’emizannyo z’agenda okutandikawo mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo.

“Njagala mpeze ennwana 6 nsomooze engule ya Uganda nzizeeko eya East Africa kubanga ez’ensambaggere nnatuuka ku ntikko. Njagala era ntambuze academe okutumbula ebitone mu ggwanga lyonna mu mizannyo egitali gimu,” Golola bwe yategeezezza.

Mu by’ensimbi ebyasoose, Rogers Semitala okuva e Kampaka yawangudde Jawal Kalenzi bwe yamukubye K.O mu lukontana  olwokubiri.

Abazannyi okuva e Mityana, Mubende ne Luwero abaawangudde ye Christopher Muddu, Derrick Trouble, Vincent Balitenda, Charles Senyonjo, John Garang, Deus Senyonjo, John Kabaata Bogere, Ismail Kasibante, Job Sewanyana ne Hussein Kiwoko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...