TOP

Onyango assuuse obuvune

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd June 2016

ENKYA Lwamukaaga, abazannyi ba Cranes baakuyingira ekisaawe kya Francistown Sports Complex ekya Botswana nga bakimanyi nti bwe bakubwa bannyinimu, emikisa gy’okuyitamu okuzannya empaka z’Afrika gyakukendeera.

Obuvune 703x422

Onyango ng'ali mu nsiike mu gw'ensimbi mu ttiimu ye eya Mamelodi Sundowns

ENKYA Lwamukaaga, abazannyi ba Cranes baakuyingira ekisaawe kya Francistown Sports Complex ekya Botswana nga bakimanyi nti bwe bakubwa bannyinimu, emikisa gy’okuyitamu okuzannya empaka z’Afrika gyakukendeera.

Ebiseera ebisinga omupiira Cranes gw’ebeera yeetaaga okuwangula okuyitawo oba okutaangaaza emikisa egiyitawo, gikaluba, wabula ku luno omutendesi Micho Sredojevic asuubizza okuwangula.

Mu gw’okwegezaamu ku Lwokubiri Cranes yakubiddwa Zimbabwe (2-0), Micho ky’agamba nti kyamuwadde eky’okuyiga n’okuzuukusa abazannyi, n’asuubiza nga bw’agenda okuyungula ttiimu kabiriiti ku Botswana.

ONYANGO ASSUUSE

Eggulo (Lwakuna) omusawo wa ttiimu, Ronald Kisolo yategeezezza nti Denis Onyango, omukwasi wa ggoolo ya Cranes ali mu mbeera nnungi nga kisigalidde mutendesi kumuwa mupiira.

Onyango yafuna obuvune ttiimu ye eya Mamelodi Sundowns (South Afrika) bwe yali yeetegekera okuzannya eya Platinum Star, era emipiira egyasembayo teyagizannya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda