TOP

Prisons ezzeemu okutigomya NIC mu liigi y'okubaka.

By Stephen Mayamba

Added 5th June 2016

Prisons ezzeemu okutigomya NIC mu liigi y'okubaka.

Vo1 703x422

UPDF 37-40 UCU

Police 29-25 KCCA

Prisons 37-33 NIC

 Mu kibinja eky’okubiri:

Blue Stars 30-29 Maroons

Posta 53-06 Kibwa

 Mu Basajja:

WOB 42-27 KU

RedStar 31-22 International

 EKYA Prisons okukuba NIC mu liigi y’eggwaga ey’okubaka kati kivudde mu kugwiira lulabika lufuuse lukuunya.  

Omulundi ogw’okusatu ogw’omuddiring'aanwa Prisons teyalabizza ku baggya baabwe aba NIC ku njuba bwe yabakubye ku ggoolo 37-33 mu liigi y’eggwanga ey’okubaka ku lwomukaaga nga June 4, 2016 e Namboole.  

NIC yazze eyagala kwesasuza n’okukoma ku jjoogo lya Prisons erirabika nti lyeyongera kula oluvanyuma lw’okubakuba ne basuuza ekya liigi ku nkomerero y’omwaka oguwedde ku ggoolo 40-39.

Ku ggoolo ze zimu Prisons yazemu okulabya NIC ennaku ku fayinolo y’empaka z’okubaka eza kirabu z’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa Uganda ze yategese mu April era bwetyo (Prisons) nesitukira mu kikopo kino omulndi ogusooka.

 Mu mirala egyasoosewo, Police yakakanye ku KCCA negikuba  ku ggoolo 29 ku 24 ne UCU  olunaku yalutandise nga kuwuttula UPDF ku ggoolo 40 ku 37.  Mu kibinja eky’okubiri Posta etendekebwa Rosette Kaala yakutte Kibwa obujjega negikomerera ggoolo 53-6.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fab2 220x290

Bassentebe ba LC1 e Buvuma bakyabanja...

Bassentebe ba LC1 e Buvuma bakyabanja eza NRM

Lob2 220x290

Ssabasumba Kizito Lwanga akubirizza...

Ssabasumba Kizito Lwanga akubirizza ab'emmamba okwenyigira mu bibiina by'obwegassi

Hib2 220x290

Abavubuka ba Buganda bakubiriziddwa...

Abavubuka ba Buganda bakubiriziddwa okwettanira okusoma

Deb2 220x290

Poliisi erinnye eggere mu lukiiko...

Poliisi erinnye eggere mu lukiiko lw'abavubuka e Kawempe

Teb2 220x290

KCCA egobaganye n'abakazi abakolera...

KCCA egobaganye n'abakazi abakolera ku nguudo z'omu Kampala