TOP

Kawempe Muslim erabizza Muteesa Royal ennaku

By Stephen Mayamba

Added 6th June 2016

Kawempe Muslim erabizza Muteesa Royal ennaku

Ka1 703x422

Kawempe Muslim 5-0 Muteesa Royals

Buikwe She Red Stars 1-0 Eastern Heroes

London College Nansana 2-0 Eastern Heroes

TTIIMU ya yunivasite ya Muteesa yagudde ku kibambulira bakyampiyoni ba liigi y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi eya ‘FUFA Women Elite League’ aba Kawempe Muslim  bwe babakakKanyeeko ne babawuttula ggoolo taano ku bwereere ne basigala ku ndeboolebo z’okusalwako.  

Omuzannyi w’omwaka oguwedde era eyasinga abateebi  ne ggoolo 17 Sandra Nabweteme ye yabadde omusaale okulabya Muteesa ennaku bwe yabateebye ggoolo satu okuweza ggoolo 20 ze yakateeba sizoni eno okwegase endala bbiri ezateebeddwa Hasipha Nassuuna naye eyawezezza ggoolo 16.

Obuwanguzi bwayambye Kawempe okuwanula Gafford Ladies ku ntikko y’ekibinja kya Victoria oluvanyuma lwokuweza obubonero 29 okuva mu mipiira 12.

Gafford eri ku bubonero 29 era nga zino zombi zamala dda okukakasa okuzannya mu kakungunta ka ‘playoffs’ aka ttiimu ennya ezikulembera ebibinja byombi n’ekya Elizabeth ezikubagana okufunako kyampiyoni.  

Mu mulala e Buikwe Nassuuna owa Kawempe yabadde ateeba bbiri nga nnyina Annet Nakimbugwe naye asala Buikwe She Redstars ku muguwa bwe yagiteebedde ggoolo eyabayambye okumegga Eastern Heroes.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.