TOP

Vipers ne KCCA battunka leero mu Uganda Cup

By Musasi wa Bukedde

Added 8th June 2016

Vipers ne KCCA battunka leero mu Uganda Cup

Pi1 703x422

Joseph Ochaya owa KCCA (ku kkono) ng’alwanira omupiira ne Mike Mutyaba owa Vipers.

LEERO MU UGANDA CUP

KCCA - Vipers, 10:00 Nakivubo

Entebbe Onduparaka e Ntebe

VIPERS yeekiise mu kkubo lya KCCA ery’okuwangula ebikopo ebibiri mu sizoni emu! Leero battunka ku semi ya Uganda Cup mu luzannya olusooka.

KCCA, kyampiyoni wa liigi, erina omukisa okufuuka ‘ssaalongo’ mu bikopo kyokka erina kusooka kuggyamu Vipers.

Ttiimu zombi zizannye fayinolo z’ekikopo kino emirundi ebiri mu myaka 4 egisembyeyo naye tekuli n’emu ekiwangudde! Vipers yazannya fayinolo ya 2011/12 n’ekubwa URA kw’ossa n’eya 2012/13 lwe baakubwa Victoria University.

KCCA ezannye fayinolo ebbiri ezikyasembyeyo (2013/14 ne 2014/15) kyokka tewanguddeeko n’emu. Vipers baakigiteekako nti yakola kinene okuyamba KCCA okuwangula liigi nti kuba buli KCCA lwe yasuulanga, nga nayo (Vipers) esuula.

Vipers yawangula omupiira gumu ku mukaaga egyasembyeyo mu liigi nga mu gino yateebamu ggoolo 3 zokka.

Okusinziira ku nkiiko z’abadde atuuza, Lawrence Mulindwa, nnannyini Vipers abadde afalaasira abazannyi be n’abatendesi okukola kyonna ekisoboka okulaba nga bawangula ekikopo kino nti era KCCA bagenda kugikomya ku semi.

George ‘Best’ Nsimbe, omutendesi wa Vipers yaliko mu KCCA n’abawangulira liigi bbiri kyokka okuva lwe yeegatta ku Vipers, tannalagawo njawulo nga guno gwe mukisa gw’alina okukakasa Mulindwa nti obutitimbe bw’ensimbe n’obwesige bwe yamuteekamu tebwafa ttogge.

Ku ludda lwa KCCA, abazannyi baayo abeetaagisa bonna weebali okuli ne Joseph Ochaya eyabadde ne Cranes e Botswana mu z’Afrika.

Ssentebe wa KCCA, Julius Kabugo yategeezezza nga KCCA bw’etegenda kuweera okutuusa nga na kino ekiwangudde. “Bwe baatukwasa ekikopo kya liigi, twagendako ku kyeggulo naye enkeera, twatandikirawo okutendekebwa era twagala ebikopo byombi,” Kabugo bwe yagambye. Semi fayinolo endala erimu Onduparaka ne Entebbe FC ku kisaawe e Ntebe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”