TOP

Bategese emisinde egy'okujjukira Abel Dhairah

By Moses Kigongo

Added 8th June 2016

Bategese emisinde egy'okujjukira Abel Dhairah

Da1 703x422

Ekibumbe ekigenda okuzimbibwa okujjukira Abwl Dhaira

WAKATI mu kaweefube w’okwagala okuzimba ekijjukizo ky’eyaliko ssita wa Cranes omugenzi Abbey Dhaire,famile ye eteeseteese emisinde egyimanyiddwa nga Abbey Dhaira cancer Run egigenda okuyindira mu kibuga Jinja ku Lwokuna ku makya.

Ekijjukizo kino kigenda kuzimbibwa mu kibumbe ekiri mukifaananyi ky’omugenzi(Abbey Dhaira) ng’ali mungoye z’abakwasi ba ggoolo era ng’akasuka omupiira okusobozesa bannabyamizannyo bonna okumujjukiranga olwebirungi bye yakolera ensiike y’omupiira n’eggwanga lyon okutwalira awamu.

Faisal Magembe omu ku bakulira entekateeka eno ategeezezza nti; “Tugenda kuzimbira Dhaira ekibumbe mukifaananyi kye nga kiri mu mayinja agamanyidwa nga “Mable” era nga kitude ku mayinja agayitibwa “granite” okufaananako agakozesebwa okuzimba ekizimbe kya Masengere”.

Kyakuwanikibwa waggulu w’ekisaawe ekimanyidwa nga Abbey Dhaira memorial stadium e Walukuba okumpi n’ekyalo gye bali bamuzaala.

Entekateeka eno ye yaviriddeko okutegeka emisinde gino(Abbey Dhaira Cancer Run)okusobola okufunamu ssente  ezinayamba okutandika omulimu guno.

Emisinde gyakubeerawo ku Lwokuna ku ssaawa 1:00am ey’okumakya era nga kampuni n’ebitongole ebimu ebyemaze edda okuwaayo ebikozesebwa omuli amazzi n’emijoozi ne ssente enkalu okudduukira entekateeka eno.

Abalala mulimu essomero lya Jinja SS omugenzi gye  yamalira S.6 abaguze tikiti za 1,000,000/-  okuwandiisa okusobozesa abasomesa n’abayizi abagenda okukulemberwa Diana Hope Tumuhirwe Nyago akulira essomero lino n’akulira emirimu gya Kyabazinga mu Busoga eyawadeyo akakade kamu.Era nga omudusi omukulu ye Dr.Joseph Muvawala katukiro wa Busoga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...