TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Bulemeezi ne Bugerere balwana kuva mu kibinja

Bulemeezi ne Bugerere balwana kuva mu kibinja

By Hussein Bukenya

Added 12th June 2016

OLUTALO lw’ani ava mu kibinja mu mpaka z'Amasaza luddamu leero (Ssande) ku bisaawe eby'enjawulo nga ttiimu zitandika lawundi eyookubiri.

Banja 703x422

Muhammed Kiiza (mu kyenvu), Bulemeezi kw’esibidde olukoba okufuna obuwanguzi leero nga basisinkanye Bugerere gye balemagana nayo (0-0) mu gwasooka.

Ku Ssande (mu z’Amasaza):

Buddu - Kabula e Masaka

Ssese - Mawogola e Lutoboka

Butambala - Busiro e Nkookooma

Kyaddondo - Buvuma e Gayaza

Gomba - Ssingo e Kabulassoke

Buweekula - Busujju e Kasenyi

Bulemeezi - Bugerere e Kasana

 

OLUTALO lw’ani ava mu kibinja mu mpaka z'Amasaza luddamu leero (Ssande) ku bisaawe eby'enjawulo nga ttiimu zitandika lawundi eyookubiri.

Ssingo, eyatwala empaka zino omwaka oguwedde, erwana kufuna buwanguzi bwayo obusooka sizoni eno, bw’eneeba ekyalidde Gomba e Kabulassoke.

George Lutalo, omutendesi wa Gomba awera kuddamu kukaabya Ssingo nga bwe yakola mu mupiira ogwasooka.

"Twetaaga okufuna obubonero buno tusobole okutangaaza emikisa gyaffe egiva mu kibinja, tulina obubonero butaano, tetulina kusumagira kubanga Buweekula ekyasobola okutuggyawo mu kyokubiri," Lutalo bwe yagambye.

Mu ngeri y'emu ne Phillip Obwiny atendeka Bulemeezi, ali mu kaseera kazibu okuyisaawo ttiimu ye eyakoma ku 'quarter' omwaka oguwedde.

Bulemeezi erina obubonero buna ng'esibaganye ne Bugerere gy'ekyaza leero.

"Tulina kusooka kukuba ono bwe tusibanye, olwo tunoonye abalala okusobola okuva mu kibinja. Tuyambiddwa nti abazannyi baffe ababadde abalwadde bakomyewo ate n'ababadde n'amasomero mu za 'Copa Coca Cola' baatwegasseeko," Obwiny bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...