TOP

Nakiwala Kiyingi ayongedde okugwa mu bintu. Yanaaba olweza!

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2016

Nakiwala Kiyingi ayongedde okugwa mu bintu. Yanaaba olweza!

Nak1 703x422

Nakiwala Kiyingi

OMUYIMA wa Express FC, Omulangira Kassim Nakibinge alonze Florence Nakiwala Kiyingi nga ssentebe wa kiraabu eno omuggya.

Nakiwala y'akalondebwa ku bwaminisita bw'abavubuka n'abaana mu Gavumenti. Ku Lwokutaano, pulezidenti wa Express, Bbaale Mugera yakwasizza Nakiwala ebigikwatako omuli ssemateeka wa kiraabu, bendera n'ebirala ku ofi isi ye e Wankulukuku.

Nakiwala yazze mu bigere bya Francis Ntalazi. Nakiwala yagambye nti wadde alina emirimu emirala, ne guno ajja kugusobola kuba ebyemizannyo abyagala nnyo wadde talina gwe yali yeetabyemu.

BYE NTANDIKIRAKO:

Nakiwala yategeezezza nti, "ηηenda kussaawo amatabi ga Express mu buli disitulikiti mu Uganda nga bwe kyali mu gy'e 60 tusobole okwongea ku bawagizi," Nakiwala bwe yaweze.

Yagasseeko nti agenda na kuzzaawo obukiiko bwa kiraabu omuli aka bboodi, akafuzi, akakakkalabya emirimu ak'abasambi wamu n'akabawagizi. "Ekiruubirirwa ekikulu kya kuzza Express ku ntikko era njagala sizoni ejja ekikopo kibeere kyaffe." Bwe yayongeddeko, n'agamba nti agenda kunoonya abavujjirizi b'ensimbi, alabe nti abazannyi bafuna kontulakiti ez'ebbanga eddene si kuzannya sizoni emu ne bagenda.

 kuva ku kkono akiwala baale ne obert ujabi owebyekikugu Okuva ku kkono Nakiwala, Bbaale ne Robert Mujabi ow'ebyekikugu.

 ηηenda kulaba nga we tunaajaguliza emyaka 60 egya kiraabu ya Express mu March wa 2017 nga buli kimu kiri bulungi era tugenda kukolaganira wamu n'omumyuka wange, Paasita Samuel Kakande, era ajja kutusabira olwo buli kimu kitambule bulungi.

BAMWOGEDDEKO: Bbaale Mugera (pulezidenti wa Express) Nakiwala abadde ku kakiiko ka Ntalazi, era mukulembeze mulungi kale tufunye okutwala kiraabu yaffe mu maaso. Francis Ntalazi (abadde ssentebe) Nze nnaleeta Nakiwala okwegatta ku Express era bwe twabeera naye twakizuula nti alina ebintu byonna bye twetaaga,, ng'okukunga abantu, mukulembeze mulungi ate amannyiddwa sso ng'era asobola okugatta abantu b'enjuyi zonna.

Ndi mabega era we ηηenda kumuwagira kiraabu egende mu maaso. Julius Bekunda (akulira abawagizi ba Express mu ggwanga); Ffe ng'abawagizi babadde tebannamutulaga mu butongole naye tetulina buzibu bwonna era tuli beetegefu okukolagana naye.

Julius Kavuma Kabenge (eyaliko ssentebe wa Express) Bbaale ayonoonye Express. Omukulembeze tebamulonda bwe batyo era Bbaale si y'atusalirawo. Ffe Nakiwala tetumumanyi, ye anaggya wa obudde bwa kiraabu ku buvunaanyizibwa bw'alina? Eno si y'entambuza y'omupiira entuufu. Omupiira guzze gukendeera lwa bamulyannimire abalowooleza mu kufuna mu kiraabu nga yo n'abazannyi tebafunamu.

Bbaale takyatwala Express mu maaso okuggyako okugiryamu. Tuyinza obutamukwata mataayi olw'ebyo by'akola, naye talowooza nti tetubiraba nti bibi.FLORENCE NAKIWALA KIYINGI Y'ANI? Muwala w'omugenzi Charles Ssonko ne Perepetwa Ssonko ab'e Masaka. Pulayimale yagisomera Kimaanya P/S ate siniya n'agisomera ku Trinity College Nabbingo ng'eno yonna ye yali akulira abayizi mu masomero gombi (Headgirl).

Yeegatta ku yunivasite y'e Makerere n'akola diguli ye esooka mu by'obusuubuzi ate ne yeeyongerayo ne mu mawanga ag'ebweru okuli Amerika, Bungereza gye yafunira diguli endala. Mufumbo yagattibwa ne bba Deogratius Kiyingi ng'ono ye mubaka w'e Bukomansimbi mu palamenti.

Baagattibwa mu 1998 era balina abaana bataano. Yaliko minisita w'abavubuka e Mmengo okumala emyaka etaano era nga musuubuzi.

 bakungu bxpress nabazannyi Abakungu b'Express n'abazannyi

 FLORENCE NAKIWALA KIYINGI Y'ANI?

Muwala w'omugenzi Charles Ssonko ne Perepetwa Ssonko ab'e Masaka.

Pulayimale yagisomera Kimaanya P/S ate siniya n'agisomera ku Trinity College Nabbingo ng'eno yonna ye yali akulira abayizi mu masomero gombi (Headgirl).

Yeegatta ku yunivasite y'e Makerere n'akola diguli ye esooka mu by'obusuubuzi ate ne yeeyongerayo ne mu mawanga ag'ebweru okuli Amerika, Bungereza gye yafunira diguli endala. Mufumbo yagattibwa ne bba Deogratius Kiyingi ng'ono ye mubaka w'e Bukomansimbi mu palamenti. Baagattibwa mu 1998 era balina abaana bataano.

Yaliko minisita w'abavubuka e Mmengo okumala emyaka etaano era nga musuubuzi.Amangu ddala nga yaakalondebwa, Nakiwala yasookedde ku kusasula bazannyi ba Express musaala, era yasuubizza okussaawo akawumbi k’ensimbi kalamba zikole ku nsonga eno wamu n'okubayamba okutandikawo bizinensi entonotono.

Bino yabyanjulidde ku kijjulo kye yawadde abazannyi, abatendesi, n'abakungu ba Express. "Amaziga gakomye kuba buno bukulembeze bupya, era kati twagala bikopo," Nakiwala bwe yategeezezza. Ekijjulo kino ky’etabiddwaako abaaliko abasambi okuli; Hassan Mubiru ne Abu Kigenyi (kati abamu ku batendesi ba Express).

Yasiimye abakulembeze ab'enjawulo okuli Godfrey Kirumira, Francis Ntalazi, Bbaale Mugera n’abalala olw'ebirungi bye bakoledde kiraabu, wamu n'omutendesi Wasswa Bbosa ayimiridde awamu ne Express mu kiseera w'etebeeredde na ssente. Ye akulira ebyekikugu mu ttiimu, Robert Mujabi, yasabye abawagizi okukomawo mu kisaawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo