TOP

Nannyondo yesozze eza Olympics

By Teddy Nakanjakko

Added 13th June 2016

OBUMMALIRIVU n’okumanya ky’aluubirira by’ebimu ku byayambye omuddusi Winnie Nannyondo okwesoga emizannyo gya Olympics eginaabaawo mu August w’omwaka guno mu kibuga Rio ekya Brazil.

Nanyondowinsbronzein800mwomen16 703x422

Nannyongo lwe yawangula omudaali mu mpaka za Common Wealth

Mmita 800

1              NANYONDO Winnie      Uganda                2: 00:57

2              Eykens Renée                   Belgium               2: 01:34

3              BOBOCEA Claudia            Romania              2: 01:49

 

OBUMMALIRIVU n’okumanya ky’aluubirira by’ebimu ku byayambye omuddusi Winnie Nannyondo okwesoga emizannyo gya Olympics eginaabaawo mu August w’omwaka guno mu kibuga Rio ekya Brazil.

Nannyondo okuva e Mityana nga yawangulira Uganda omudaali gw’ekikomo mu mmita 800 mu mpaka za Commonwealth, yeesoze Olympics oluvanyuma lw’okuwangula ekibinja eky’okubiri mu mpaka za Golden Spike ez’omulundi ogwa 45 ezaabadde mu kibuga Leiden ekya Budaaki ku Lwomukaaga ekiro.

Mmita 800 yaziddukidde eddakiika 2:00:57 n’atuusa obudde obwetaagisa mu Olympics obwa 2:01.50 era mu ssanyu eringi yeebazizza Mukama olw’ekitone , omutendesi , b’atendekebwa nabo, abamuteekamu ensimbi aba Global Sports Communication na bonna abamuyambye okutuuka ku kino.

Mu ngeri y’emu n’omuddusi omulala Moses Kurong naye mu mpaka z’ezmu yakutte kyakubiri mu mmita 10,000 nga zino yaziddukidde eddakiika 27. 27.43 naye ne yeesoga Olympics mu mmita zino.

Omuwendo gw’abaddusi abaakatuusa obudde obwetaagisa mu Olympics gweyongeddeko nga kati baweze 18 nga ku bano abeetoloola ebyalo oba Marathon baakutwaloko bana.

Abatuusizza obudde kuliko Stephen Kiprotich, Robert Chemonges, Jackson Kiprop, Solomon Mutai, Abraham Kiplimo, Alex Chesakit ne Moses Kipsiro  ba misinde gya kwetoloola byalo (Marathon) naye nga ku bano kwakulondebwako abaddusi bana abali ku foomu, Adero Nyakisi, Peruth Chemutai, Benjamin Kiplagat, Ronald Musagala, Phillip Kipyeko, Joshua Cheptegei, Timothy Toroitich, Stella Chesang  ate abazannyi b’ebikonde bali  babiri okuli Ronald Serugo ne Kenneth Katende.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Goat46 220x290

Abantu basalawo batya okwambulira...

NAYE nga ddala lwaki Bannayuganda balemwa okwambalira emikolo gy’abantu ne basalawo okwambalira embuzi obubuzi...

Kol0 220x290

Katikkiro akubirizza Bannamawokota...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti ebyenjigiriza ensangi zino byetaaga okutumbula ebitone by'abaana, okubateekamu...

Kibwa0 220x290

Ab'e Katooke beegugunze ne baziba...

ABATUUZE b'e Nabweru mu Kibwa beegugunze ne baziba oluguudo lw'e Katooke - Kibwa nga balaga obutali bumativu olw'embeera...

Yokya 220x290

Ajereze omukazi n’anyiiga n’amuyiira...

POLIISI ekutte omukazi agambibwa okwokya mukwano gwe olweje oluvannyuma lw’okumujerega.

Muzaata 220x290

Ensi egudde eddalu! Muzaata afuuka...

SHEIKH Muzaata baamuyise kulya n’adda mu kubala abaana! Mu kugenda ku mukolo gw’okukyaza abako, eyandikulembeddemu...