TOP

Mutebi tannakola kya maanyi mu KCCA FC

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2016

Mutebi tannakola kya maanyi mu KCCA FC

Kaw1 703x422

Kato Kawuma

NG’AYOGERA oluvannyuma lw’okuwangula liigi ya babinywera omwezi oguwedde, omutendesi wa KCCA FC, Mike Mutebi yagambye nti omutindo gwa kiraabu zonna gubadde mubi sso nga n’abazannyi tebalina nnyo kye balazeewo mu kuzannya omupiira ogunyumira abawagizi.

Kino kye kikopo Mutebi ky’asoose okuwangula bukya ayingira butendesi mu myaka gy’e 90. Oluvannyuma lwa KCCA FC okukubwa Villa ku fayinolo ya ‘Uganda Cup’ sizoni ewedde, nga n’ekikopo kya liigi balemeddwa okukyeddiza, akakiiko akafuga ttiimu eno kaalonda Mike Mutebi okusikira Abdallah Mubiru.

Kyategeezebwa nti Mutebi yali waakukolera mu bajeti ya kawumbi kalamba (obukadde 1,000) era Nnankulu wa Kampala, Jennifer Musisi ng’amwanjula yamusaba awangule ebikopo eby’omuzinzi. Kkampuni ya Star Times ne Prime Media nazo zayo-nge-ra oku-ssa mu ttiimu eno ensimbi sizoni ewedde.

Mutebi naye yasuubiza Nnankulu nti ayagala KCCA eddeyo ku nnono y’omupiira ogw’akawoowo ogunyumira abantu, eddemu n’okujjuza abazannyi mu Cranes, okuwangula emipiira ne ggoolo ennyingi, n’okuzza empisa mu bazannyi kyongere okuweesa ekitongole kya KCCA ekitiibwa.

Ng’ali wamu n’omumyuka we, Sam Ssimbwa, baafuumuulirawo abazannyi 12 ku be baasangawo ne babasikiza abapya be baatenda omutindo omwali; Isaac Sserunkuuma, Farouk Matovu, Hassan ‘Dazo’ Wasswa, Martin Mpuuga, Muzamir Mutyaba, Denis Okot, Dan Nsubuga, Nelson Senkatuuka, Ayiko, ne ‘bapulofeesono’ okwali Omutanzania Shaban Kondo n’Omunigeria Suleiman Akinyemi n’abalala.

Mu makkati ga sizoni, Mutebi yayongera okugogola ttiimu n’agiggyamu Owen Kasule, Yasin Mugabi wamu ne ‘bassita’ be yajja nabo okwali Matovu, Serunkuuma ne Nsubuga. Bano yabasikiza Jackson Nunda, Kikonyogo, Geoffrey Sembatya, Lawrence Kasadha, Julius Poloto, Farouk Kawooya , Petit Wanock, Emma Magembe ate n’akomyawo Herman Wasswa gwe yagoba nga baakamuwa omulimu.

Nneebaza Mutebi okwogera amazima nti KCCA yabadde wa ttulu (ow’eriiso erimu) mu bamuzibe kuba omutindo gwe yawanguliddeko ekikopo tegwasukkulumye ku gwa ndala. KCCA yawangulidde ku bubonero 57 n’eddirirwa Vipers 53 ng’eno yenkana ne Express, eyali yeeyaguza oluggyo.

Ttiimu emazeeko sizoni ng’evuluujiza mu nsimbi z’omuwi w’omusolo n’okulabirirwa ng'omwana, tewandisuubidde kusinga Express, eyimiriddewo ku ‘bubbo’ obubonero 4 bwokka!

Ku bintu Mutebi bye yasuubiza Nnankulu, asobodde kukyusa kya mpisa za bazannyi n’okugirabisa obulungi mu bantu kuba bakama be bakkiriza okugulira abazannyi bonna amasuuti ge bambala ku mikolo emitongole, mpozzi n’ekikopo kya liigi, ky’awangudde ku ‘bamuzibe’.

Abazannyi be yasuubizza okujjuza mu Cranes, waliyo Joseph Ochaya yekka nga Mutyaba, Ntege ne Okhuti ababadde batera okuyitibwa, baweza muwendo! Ku lwange, omusimbi ogwaweebwa Mutebi okuzimba ttiimu sizoni ewedde, ogusinga agutemeddeko ettaka kuba talina ky’agyongeddeko.

Liigi yagiwangudde lwa Vipers kubutaabutanira mu batendesi, ssaako Express ne Villa okubulwa obukulembeze obulungi. Ttiimu etutte ekikopo teyinza kuba na muzannyi omu yekka (Ochaya) ayase n’otendereza omutendesi waayo!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.