TOP

Ddiifiri omutuufu alina okubangulwa

By Musasi wa Bukedde

Added 14th June 2016

Ddiifiri omutuufu alina okubangulwa

Tom1 703x422

Ali Tomusange

Baddiifiri mu nsi yonna bayita mu buwonvu na bukko okutuuka ku ntikko! Baddiifri be mulaba batandikira wansi nnyo ne balinnya mpola amadaala okutuuka buli omu w’abeegombera.

Mu Uganda, ddiifiri atandikira ku ddaala lyakusatu, n’akuzibwa n’adda ku ddaala eryokubiri olwo n’agenda ku lisooka. Bw’akola obulungi, FUFA eweereza erinnya lye mu FIFA n’emukakasa ku lukalala lwa baddiifiri abamulamula mu nsi yonna.

Batuula ebigezo ebiwandikibwa n’eby’okubuuza nga ddiifiri ayanukula. Oluvannyuma bazzaako eby’oku kisaawe okuli okubeekebejja omutindo. Ku nkomerero ya wiiki ewedde, baddiifiri baakoze ebigezo ebibatwala ku madaala eg’enjawulo. Bano buli mwezi balina okukola ebibuuzo bisatu ne babiweereza mu CAF ne FIFA. Ataweereza abeera mu buzibu.

Ku ntandikwa y’omwaka guno, FIFA yaweereza buli omu essaawa ey’omulembe nga yaakukozesa nga bali mu kutendekebwa. Essaawa eno kompyuta yennyini ekwata buli kalonda ow’omu kutendekebwa era babiweereza omusomesa waabwe atuula e Malawi. Waliwo omu ku bo (amannya ngalese) ate y’essaawa gy’alina, atendekebwa bamulaba. Ffirimbi awo w’etuuse kati. Wadde ebigezo byonna, bikolebwa naye tebimala.

Ddiifiri yenna akuzibwa, ateekeddwa okuba ng’okulamula omupiira akusoboka era kino kye kigezo ekisooka! Kyangu okuyita ebibuuzo mu kibiina nga mu kisaawe tosobola. Era kyangu okufuna omulungi ku kisaawe naye nga tasobola bibuuzo bya mu kibiina!

Baddiifiri ab’ekika ekyo tebakuzibwa! Akuzibwa yooyo asobola byombi. Baddiifiri baffe abaakoze ebigezo bino, mbaagaliza mikisa mubiyite era mukuzibwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda