TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Omuzungu eyatendekako SC Villa akomyewo n’asaba Misagga omulimu

Omuzungu eyatendekako SC Villa akomyewo n’asaba Misagga omulimu

By Musasi wa Bukedde

Added 15th June 2016

OMUZUNGU, Antonio Flores, SC Villa gwe yafuumuula akomyewo n’asaba omulimu guno, ate ne Pulezidenti wa Villa, Ying. Ben Misagga n’amukooneramu nti mu baakasaba y’asinga enkizo.

Flores 703x422

Flores (ku kkono) Kirya wakati ne maneja wa Villa, Vally Mugwanya (owookubiri ku ddyo).

OMUZUNGU, Antonio Flores, SC Villa gwe yafuumuula akomyewo n’asaba omulimu guno, ate ne Pulezidenti wa Villa, Ying. Ben Misagga n’amukooneramu nti mu baakasaba y’asinga enkizo.

Ekyewuunyisa, Flores ayagala Ibrahim Kirya ng’ayagala y’aba abeera omumyuka we. Flores okusaba omulimu guno kiddiridde Misagga okugoba Kirya n’ategeeza nti ayagala batendesi bakugu abasobola okuwangulira Villa ebikopo.

Flores awera nga bw’agenda okufuula Villa ttiimu eyeeyagaza buli muntu.

Yagobwa sizoni ewedde, nga ku mipiira omunaana gye yali yaakatendekako, awanguddeko ebiri gyokka.

Misagga yategeezezza nti abatendesi abasoba mu 25 be baakasaba omulimu kyokka nga Flores alina enkizo kubanga ttiimu agimanyi endya ne nsula nga kyandimwanguyira okukwatagana amangu n’abazannyi okusinga abatendesi abapya.

“Ku batendesi 25 be twakafuna, Flores y’omu ku bali ku mwanjo kuba ebisaanyizo bye twetaaga abirina ate ne ttiimu kati agimanyi bulungi nnyo,” Misagga bwe yategeezezza.

Flores yategeezezza nti ekyamuteesezzaayo empapula kwe kwagala okulaga abawagizi ba Villa nti omulimu yali agusobola era agenda kugizza engulu.

“Omupiira gwa Uganda nnali sinnaguyiga bulungi kyokka kati bwe bampa omulimu Villa erina okuwangula ebikopo,” Flores bwe yategeezezza.

Ng’oggyeeko Flores, abatendesi Abazungu abalala bali 16, okuli ne Marian Dorin eyatendekako Nalubaale FC eyali eya Njuubi.

Bannayuganda bakyali mwenda, era kuliko; Deo Sserwadda nga mu kaseera kano atendeka Police Mobile era ng’ayagala kukola ne Shafi q Bisaso, Joseph Mutyaba atendeka Lweza, ayagala amyukibwe James Odoch owa JMC.

Abalala ye; Richard Okumu, Asaph Mwebaze ne Fred Kajoba owa Bright Stars. Mwebaze yakakkasizza nga bwe yasabye omulimu guno nti kyokka enteeseganya tezinnatandika, wabula ng’alina essuubi nti asobola okugutwala kuba alina buli kyetaagisa okuwangulira Villa ebikopo.

Kajoba yagambye nti eby’okusaba omulimu tannabirowozaako, wadde waliwo abaamukubira essimu nga baagala akikole.

Kirya yategeezezza nti wadde Misagga yamugobye, yataddeyo empapula ezisaba omulimu guno kuba Villa agirinamu obumanyirivu. “Omulimu ngusobola era nkimannyi nti mukamawange Misagga asobola okugumpa.

Bulijjo mbeera mumyuka naye ku luno njagala ntandike sizoni nga nze mutendesi omukulu nsobole okukola ekyenjawulo,” Kirya, eyawangulira Villa ‘Uganda Cup’ bwe yategeezezza.

Abatendesi Abagwira abalala kuliko; Phiri Patrick (Zambia), Gally Tobi (Cameroon), Bruno Perira (Portugal) n’abalala. Bukya Flores agobwa mu Villa omwaka oguwedde, tafunanga ttiimu ndala.

Yasabako ogwa Gor Mahia (Kenya) n’ogwebyekikugu ku ttiimu ya Rwanda ey’eggwanga, kyokka tebaamuwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Twala 220x290

Engeri omusuubuzi w’ewa Kisekka...

ABAZIGU abeebijambiya balondodde omusuubuzi ow’amaanyi ne bamutemula. Bamuttidde ku ggeeti y’amaka ge nga yeggulira...

Rowee 220x290

Musaayimuto wa Arsenal ataddewo...

Rowe yali mu ttiimu ya Bungereza ey'abatasussa myaka 17 eyatwala World Cup.

Ki 220x290

Ebya Kirumira poliisi ebiyingizzaamu...

EBY’OKUTEMULWA kwa Muhammad Kirumira Poliisi ebiyingizzaamu Bukedde bw’eyise abasasi baayo basatu okukola Sitatimenti...

Ggwanika1 220x290

Ab'eddwaaliro ly'e Kamuli batubidde...

Poliisi y’e Kamuli n’abakulira eddwaliro ly’e Kamuli batubidde n’omulambo ogw’omukazi eyabadde olubuto olukulu...

Eddwalirolyebutengahealthcentreiv 220x290

Eddwaaliro ly'e Bukomansimbi lisaliddwaako...

Abatuuze b'e Bukomansimbi bali mu katuubagiro olw'eddwaliro erisinga obunene mu disitulikiti eno okusalibwako amasannyalaze...