TOP

Minisita Nakiwala atandikiddewo ‘okwera’ Express

By Hussein Bukenya

Added 16th June 2016

NGA bangi ku bawagizi ba Express bagenda mu maaso okujaganya olw’okulondebwa kwa minisita Florence Nakiwala Kiyingi ku bwassentebe bwa ttiimu, abamu ku bakungu bakukkuluma lwa kusuulibwa.

Nakiwala1 703x422

Ssentebe wa Express FC omuggya Owek. Florence Nakiwala Kiyingi (ku ddyo) ng'alagayo Wasswa Bbossa gwe baawadde endagaano emukakasa ku butendesi bwa Express FC ng'ayanjula obukiiko bw'agenda okukola nabwo mu bukulembeze bwe. (STEPHEN MAYAMBA)

NGA bangi ku bawagizi ba Express bagenda mu maaso okujaganya olw’okulondebwa kwa minisita Florence Nakiwala Kiyingi ku bwassentebe bwa ttiimu, abamu ku bakungu bakukkuluma lwa kusuulibwa.

Ku Mmande, Nakiwala Kiyingi yayongedde Wasswa Bbosa endagaano y’obutendesi, n’alonda n’akakiiko akagenda okuddukanya emirimu mu kiraabu.

Ku bano kuliko; Ram Hadji (akulira emirimu), Victor Aiden Ssebudde (wa byansimbi), Robert Mujabi (wa byakikugu), Gideon Kigoonya (akwanaganya bawagizi), Patrick Matovu (kitunzi), ne Michael Bwisho (wa byamawulire).

Ku kakiiko kano abantu bangi ababadde baddukanya kiraabu baasuuliddwa. Kuliko; Alex Gitta (abadde atwalibwa ng’omutendesi omukulu kyokka nga Bbosa y’asinga okuvuga), Peter Nkugwa (abadde omumyuka wa ssentebe omukadde, Francis Ntalazi), Haruna Tamale (wa byakikugu) ne Lawrence Kato, mmemba ku kakiiko.

Mu kifo kya Gitta, Kiyingi yalondeddemu Mujabi okukola ne Bbosa. Nkugwa yategeezezza nti kikyamu okusuula abantu abalina obumanyirivu nga ye, mu kaseera we basinga okwetaagisiza.

“Obutampa kifo tekitegeeza nti siri mukulembeze mulungi era Kiyingi agenda kunsubwa nnyo,” Nkugwa bwe yategeezezza, n’agattako nti Kiyingi alina okukimanya nti ssente zokka tezimala kutwala ttiimu mu maaso, wabula n’abantu abalina obukugu baba beetaagibwa.

Gitta yagambye nti tannafuna bbaluwa ntongole emugoba naye ng’okusinziira bw’alabamu ebintu tali mu nteekateeka za ssentebe omuggya. “ Ng’enda kugezaako okwogera naye ndabe oba ampa endagaano, nga sinnalowooza ku kiddako,” Gitta bwe yategeezezza.

Kiyingi yategeezezza akakiiko akaggya nti omulimu gwako omukulu gwa kuwangula kikopo. “ Mufube okulaba ng’abazannyi be tulina tebagenda ate mulongoose n’ekifaananyi kya ttiimu,” Nakiwala bwe yabakuutidde, n’awa Ram Hadji nsalessale wa March 2017 okulaba ng’azizzaawo ematabi g’abawagizi 50 okwetooloola eggwanga.

Kiyingi era yalonze abantu bana okumuyambagako okuddukanya ofi isi y’obwassentebe nga tasangiddwaawo, kuba alina emirimu mingi.

Bano kuliko; Shamim Kirabo, (mukyala wa Bbosa), Haruna Sengooba, Abdul Kinobe ne Jennifer Musoke.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...