TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Eyawangulidde Uganda omudaali gwa feeza mu mifumbi bamwanirizza nga muzira

Eyawangulidde Uganda omudaali gwa feeza mu mifumbi bamwanirizza nga muzira

By Herbert Musoke

Added 16th June 2016

OLUVANNYUMA lw'okuwangula omudaali gwa feeza mu mpaka z'okusiba emifumbi eza INBA World Championship mu kibuga Budapest mu Hungary, Mubarak Kizito akubidde akakiiko akaddukanya eby'emizannyo mu ggwanga n'ekibiina ekitwala omuzannyo gw'emifumbi omulanga okulaba nga bayamba abazannyi abalala mu kaweefube w'okuzimba ttiimu y'eggwanga ey'emifumbi.

Zira 703x422

(center)

OLUVANNYUMA lw'okuwangula omudaali gwa feeza mu mpaka z'okusiba emifumbi eza INBA World Championship mu kibuga Budapest mu Hungary, Mubarak Kizito akubidde akakiiko akaddukanya eby'emizannyo mu ggwanga n'ekibiina ekitwala omuzannyo gw'emifumbi omulanga okulaba nga bayamba abazannyi abalala mu kaweefube w'okuzimba ttiimu y'eggwanga ey'emifumbi.

Bino abyogedde ayanirizibwa omuwandiisi w'akakiiko akatwala eby'emizannyo mu Uganda Nicholas Mulamagi e Lugogo ng’ava e Hungary gye yeetabidde mu mpaka z’okusiba emifumbi n’akwata eky'okubiri ate ye Ivan Byekwaso (abadde kafulu) n'akwata kyamukaaga era wano Kizito wasambajjidde ebyogerwa Byekwaso nti baakyusa erinnya lye n’agamba nti abasazi b'empaka zino bakugu ate abagoberera amateeka. 

Mw. Mulamagi naye akkaatirizza oky'okutwala abazannyi nga ttiimu y'eggwanga ng'agamba nti kibeera kirungi okussaawo okusunsula singa wabeerawo empaka ez'amaanyi ng'ensi yonna ezibeera zigenda okuzannyibwa okusobola okuyamba eggwanga okwongera okuwangula emidaali.

Ono ayaniriziddwa mu mizira na nduulu okuviira ddala ku kisaawe ky'ennyonyi e Ntebe n'awerekerwa okutuusibwa ku kitebe ky'akakiiko ky'ebyemizannyo e Lugogo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheeber 220x290

Sheebah Karungi akutudde ddiiru...

OMUYIMBI Sheebah Karungi oluvudde mu ggwanga lya Amerika gy’abadde akubira abaayo omuziki atuukidde mu kukutula...

Kubaka9 220x290

Obuwanguzi bwa ttiimu ya Uganda...

Obuwanguzi bwa ttiimu ya Uganda ey'okubaka mu bifanaanyi

Illegalgears10 220x290

UPDF ekutte abavubi 17 ku nnyanja...

UPDF ekutte abavubi 17 ku nnyanja Nalubaale e Jinja Mayuge lwa nvuba mbi

Kasubibwafanana1 220x290

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro...

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro g'e Kasubi n'agumya Abaganda

Minisitaruhankanarugundangakwasaugandaekikopo 220x290

Uganda ekoze likodi ng'ewangula...

TTIIMU ya Uganda ey’okubaka esitukidde mu kikopo kya 2018 World University Netball Championship ezibadde ziyindira...