TOP

Eto’o awasizza ne yeggya mu kibi

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2016

Eyali ssita wa Cameroon ne Barcelona, Samuel Eto’o yeeyambisizza akakakisa k’okuba mu luwummula n’akuba kabiite we, Georgette Tra Lou embaga.

Samuelandgeorgetteetoo 703x422

Eto ng'emema n'omuninkini we

Eyali ssita wa Cameroon ne Barcelona, Samuel Eto’o yeeyambisizza akakakisa k’okuba mu luwummula n’akuba kabiite we, Georgette Tra Lou embaga.

Buli lunaku Eto’o ategeeza banne nga bw’akoooye okuba mu kibi (obutagattibwa mpeta) ne munne era kwe yavudde yeeyambule ekibi kino.

Omukolo guno ogwabadde amatiribona, gwabade mu kibuga Stezzano Yitale era abaali banywanyi ba Eto’o ng’akyazannya omupiira okuli Carles Puyol owa Barcelona n’abalala baabaddeyo.

Eto’o ne Georgette balina abaana babiri kyokka nga baasooka kukola mbaga nga bayita mu mikolo gy’obuwangwa bwabwe mu 2007.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...