TOP

South Korea eneeyigiriza Uganda emizannyo

By Silvano Kibuuka

Added 17th June 2016

MINISITA w’emizannyo, Charles Bakkabulindi agambye nti ne bwe yandivudde ku bwaminisita, etteeka lya Gavumenti eriragira ebibiina by’emizannyo byonna okwewandiisa lyandisigaddewo era n’akubiriza ebyo byonna ebikyalisimbidde ekkuuli okuligondera.

Tai 703x422

Aba Taekwondo nga boolesa obukodyo.

MINISITA w’emizannyo, Charles Bakkabulindi agambye nti ne bwe yandivudde ku bwaminisita, etteeka lya Gavumenti eriragira ebibiina by’emizannyo byonna okwewandiisa lyandisigaddewo era n’akubiriza ebyo byonna ebikyalisimbidde ekkuuli okuligondera.

Ku bibiina 54 ebiddukanya emizannyo mu ggwanga, 23 byokka bye byakatuukiriza ebisaanyizo by’okwewandiisa.

Bakkabulindi bino yabyogeredde Lugogo mu MTN Arena ku mwoleso gw’omuzannyo gwa Taekwondo ogwakoleddwa ekibiina kya Kukkiwon Tae Kwondo Demonstration Team ekyavudde mu South Korea.

Bakkabulindi yagambye nti omwoleso guno gumu ku nkolagana wakati wa Gavumenti ya Uganda ne South Korea. Gye buvuddeko, Pulezidenti wa South Korea, Park Geun-hye yakyaddeko mu Uganda okwongera okussaawo enkolagana wakati w’amawanga gombi.

Baalaze obukodyo omuli okubuuka mu bbanga nga bwe bayasa obubaawo n’ebirala. “China yakukumba emidaali mu Olympics lwa kwenyigira mu mizannyo nga gino.

Tusuubira South Korea okuyamba Uganda okutumbula omuzannyo guno naffe tutandike okuwangula emidaali,’ Bakkabulindi bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kig7 220x290

Omugagga Ham azzeemu ebibuuzo 20...

Omugagga Ham azzeemu ebibuuzo 20 ku katabo ke n'obulamu bwe.

Abamukubakulembezebekasawoababaddebeetabyemulukungaanaluno 220x290

Ab'e Kasawo bakukkuluma olw'ababasaba...

“Twetaaga okumanya ekituufu ku nsonga z’okwewandiisa oba nga ssente ziteekeddwa okusasulwa tusabe obuyambi okuva...

Kabuta2 220x290

‘Temwongeza bbeeyi ya nnyama ku...

Abatemi b'ennyama abeegattira mu kibiina kya, “Kampala Butcher Trader’s Association” (KABUTA) ekikulemberwa Sennabulya...

Ras22 220x290

Bakitunzi ba Rashford bamutaddeko...

Rashord, 21, yava mu akademi ya ManU okwegatta ku ManU kyokka waliwo ebigambibwa nti Barcelona emuperereza.

Barnabasnawangwe703422 220x290

Makerere University esabye Gav't...

YUNIVASITE y’e Makerere esabye gavumenti egyongere obuwumbi 47 ziyambe mu kukola ku by’okusasula emisaala gy’abakozi...