TOP

Ttiimu y'eggwanga eya yunivasite yeetegekera za nsi yonna

By Silvano Kibuuka

Added 1st July 2016

Abazannyi ba ttiimu y’eggwanga egenda okukiikirira eggwanga mu mpaka z’ensi yonna ez’okubaka bafunvubidde mu kutendekebwa okuzeetegekera nga bakola dduyiro buli lunaku e Nakivuno.

Kola 703x422

Abazannyi mu ttiimu y'eggwanga eya Yunivasite nga bali mu kutendekebwa e Nakivubo nga beetegekera empaka z'ensi yonna mu Amerika ezitandika nga July 13. (ekif:Silvano Kibuuka)

Abazannyi ba ttiimu y’eggwanga egenda okukiikirira eggwanga mu mpaka z’ensi yonna ez’okubaka  bafunvubidde mu kutendekebwa okuzeetegekera nga bakola dduyiro buli lunaku e Nakivuno.

Omutendesi Rashid Mubiru agambye nti okutandika ku Mmande basuubira okudda e Lugogo okwongera okubangulwa okwetegekera empaka ez’omulundi ogwokubiri ezigenda okubumbujjira ku kibuga Florida eky’essaza lya Florida mu Amerika okutandika nga July 13.

Abazannyi bonna e 12 abaayitibwa kati beeyanjudde mu kutendekebwa okuvannyuma lw’abamu ababadde bakola ebibuuzo okumaliriza.

“Twagala kudda Lugogo okumanyiira embeera kubanga mu Florida tugenda kuzannyira munda. Wadde nga kati okusana mungi mu Amerika, tegujja kukosa ttiimu. Abazannyi bali mu mbeera nnungi nga ne kye bakola bakyagala,” omutendesi Rashid Mubiru bw’ategeezezza ku mutendeka e Nakivubo mu ttuntu lya leero.

Agambye nti oluvannyuma lw’okutwala ttiimu ya She Cranes eyali mu mpaka z’ensi yonna mu Australia omwaka oguwedde kati amanyi aweetaaga okussa amaanyi okusobola okuvuganya ne ttiimu ze bagenda okukwatagana nazo.

Uganda eri mu kibinja B ne Australia (abaawangula World Cup), Jamaica, ne Bungereza. Mu mpaka ezaaooka mu 2012 mu South Africa, Uganda yamalira mu kyakutaano.

Abazannyi abali ku ttiimu ya Uganda kwe kuli Ruth Meeme, Florence Adunia, Carol Namusoke, Joan Aneo, Alice Wesagali, Irene Akello, Irene Eyalu, Sarah Nakitende, Nussula Ssebi, Angela Namirembe, Susan Anito ne Flavia Nakanwagi.

Bonna bazannyi ba ttiimu za yinivasite ng’abamu bazannyira nemu kiraabu ezizannya mu liigi ya babinywera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa