TOP

Abaddusi baakuttunka mu mpaka z'eggwanga

By Teddy Nakanjakko

Added 4th July 2016

EKIBIINA ekiddukanya emisinde mu ggwanga mu kaweefube w’okuyamba abaddusi okutuusa obudde obwetaagisa mu mpaka za Olympics n’ez’abato e Poland kisembeza empaka z’eggwanga nga zino zaakubeerawo ku Lwokusatu n’Olwokuna mu kisaawe e Namboole.

Run 703x422

Abamu ku baddusi nga bali mu nsiike e Namboole gye buvuddeko

EKIBIINA ekiddukanya emisinde mu ggwanga mu kaweefube w’okuyamba abaddusi okutuusa obudde obwetaagisa mu mpaka za Olympics n’ez’abato e Poland kisembeza empaka z’eggwanga nga zino zaakubeerawo ku Lwokusatu n’Olwokuna mu kisaawe e Namboole.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa ekibiina empaka zino okuzisembeza kitunuulidde kuwa  baddusi mukasa okutuusa obudde obwetaagisa mu mizannyo eginaabeera e Rio ekya Brazil ng’olwa July 11 terunnatuuka.

Omuwandiisi w’ekibiina Beatrice Ayiekoru agamba nti batunuulidde okutwala abaddusi 20 mu mizannyo gya Olympics nga mu mpaka z’eggwanga batunuulidde abaddusi abayinza okuweza omuwendo guno nga 17 be baakatuusa obudde.

Mu mpaka z’e Namboole, abaddusi abali wansi w’emyaka 20 nabo baweereddwa omukisa okutuusa obudde obwetaagisa okukiika mu mpaka z’ensi yonna ezinaabeera mu kibuga Bydgoszcz ekya Polanda okuva nga July 19-24, 2016.

Abakatuusa obudde bwa Olympics kuliko Stephen Kiprotich, Solomon Mutai, Jackson Kiprop, Abraham Kiplimo, Robert Chemonges, Alex Chesakit ne Moses Kipsiro mu Marathon.  Adero Nyakisi  ye mukazi yekka mu z’okwetoloola ebyalo.

Benjamin Kiplagat, Jacob Araptany ne Peruth Chemutai (steeplechase), Ronald Musagala (1500m), Philip Kipyeko ne Joshua Cheptegei, Stella Chesang (5000m), Timothy Toroitich, Cheptegei ne  Juliet Chekwel (10000m).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lionelmessifansmockcristianoronaldoafterargentinastarscoresagainsturuguay1206166 220x290

Messi n'era ayongedde okusiiwuuka...

Yateebedde Argentina ggoolo eyagiyambye okulemagana ne Uruguay (2-2) ku Mmande kyokka n’agugulana n’omuteebi wa...

Griezmannsad 220x290

Barcelona nzibu kuzannyiramu -...

Kyaddaaki Antoine Griezmann akkirizza nti Barcelona y’emu ku kiraabu ezisinga obuzibu okuzannyiramu omupiira.

Jose 220x290

Munnayuganda alidde obusumba e...

PAAPA alonze Munnayuganda Msgr Joseph Kizito okuba omusumba w’essaza lya Klezia ery’e Aliwal e South Afrika.

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...