TOP

Allan Munaaba; Ku mupiira agattako okufumba keeki

By Ismail Mulangwa

Added 6th July 2016

Olunaku lwange olwasooka okulinnya ku kisaawe lwali luzibu nnyo kuba abazannyi be nasangayo omwali; Phillip Obwiny, Richard Malinga, Ibrahim Mugisha ne Eric Obua nali mbatya kuba ebiseera ebyo baali bakabi nnyo.

Munaaba1 703x422

Munaaba mu kisaawe

Allan Tarsis Munaaba omuzibizi wa URA, obulamu bwe mu mupiira bwewuunyisa anti akidding'ana lunye nti omupiira yagwamu mugwe. ISMAIL MULANGWA yanyumizzaamu naye n’agamba bwati;

ABANTU abasinga bandaba mu kisaawe ne bampita Marcelo olw'enzannya eyeefaananyiriza ey’Omubrazil oyo. Omupiira nagutandika mu ngeri ya kusaaga kuba okuva obuto, nali mmatira nnyo golf nga nze nkwata ensawo z’abagagga.

Nzaalibwa James Kisambira ne Robinah Kisambira ababeera e Namasuba mu Pala Zone kyokka ng’amaka gaffe amakulu gali mu kibuga Jinja era eyo gye twakulira.

Ndi waakubiri mu famire ey’abaana abataano era nze nzekka alya ku kitone ky'omupiira. Emisomo nagitandikira mu Victoria Nile P/S e Jinja gye namalira P7.

Nneegatta ku Seeta High e Mukono ne ntuulirawo S4 ne S6. Nayitira waggulu ne newuunyisa bazadde bange abaali balowooza nti obudde bwonna mbumalira ku mupiira.

 unaaba ngatabula engaano mwakola keeki Munaaba ng’atabula engaano mwakola keeki.

 

Mu 2008, nneegatta ku Yunivasite y’e Makerere gye nava mu 2012 ne diguli mu byenfuna.

Omupiira nagutandikira mu JMC e Jinja mu 2005 ng'eri mu kibinja kyakubiri ne ngireeta mu kibinja ekisooka, wabula olw’okuba nti nnali nsomera mu kisulo, nalwangawo okuzannyira ttiimu yange.

Mu luwummula lwa S6, najja e Kampala ewa ssenga Suzan Nabitende, omutuuze w’e Kitebi Wankulukuku.

Ng’omuntu omugezi yenna, natandika okuyiiya mpola nga nkola ku Golf Course e Kololo nga nsika ebisawo by’abagagga kuba omulimu ogwo nali nagukolako ewaffe e Jinja ng’era nfuna omusaala omusaamusaamu kyokka nga ngumbeezaawo.

NG’ENDA KU URA GYENASOOKA OKUDDUKA

Olumu mu 2008, kkojjange Paul Babalanda, eyali omukozi mu kitongole kya URA Customs, yantwala e Namboole ku kisaawe URA FC gye yatendekerwanga okugezesebwa kuba yali amanyi nti omupiira ngumanyi.

Olunaku lwange olwasooka okulinnya ku kisaawe lwali luzibu nnyo kuba abazannyi be nasangayo omwali; Phillip Obwiny, Richard Malinga, Ibrahim Mugisha ne Eric Obua nali mbatya kuba ebiseera ebyo baali bakabi nnyo.

Twatendekebwanga Frank ‘Video’ Anyau, kyokka nneekyawa ne siddayo ku kisaawe olunaku olwaddako, era mukwano gwange James Kayimba n’anzigirira Villa ng'ayita mu mukungu waayo Dr. Vincent Karuhanga eyali ayagala ennyo abazannyi abato.

Nabukeereza nkokola ne ng’enda ku Villa Park, ttiimu gye nnali nneegomba edda ng’eno nasangayo abazannyi be twenkana mu myaka ekyanyanguyiza embeera wadde nga ky’anyiiza kkojja, eyanzigyayo n’anzizza mu URA.

Ennaku ezaddako, nagenda mmanyiira embeera mu URA era ebintu ne birongooka okukkakkana nga ntadde omukono ku ndagaano mu 2008.

Ebimu ku byannyamba, nnali muddusi mulungi anzannya nnamba 11. Omulundi gwange ogwasooka okuzannyira URA gwali mupiira gwa Yanga ey’e Tanzania mu mpaka za Tusker.

Mu 2009, baaleeta Tony Mawejje, omugenzi Abel Dhaira ne Martin Muwanga abaatuyamba okuwangula liigi era kye kikopo kyange ekyasooka.

Alex Isabirye, mu 2010 yeyasooka okumpa eddakiika 90 mu URA bwe twali tuzannya Gor Mahia e Kenya mu gw’omukwano, kyokka eng’eri gye nakubamu nnamba 3 yamatizza buli omu.

Sizoni ya 2011, ebintu tebyatambula bulungi kuba ttiimu yaffe yavuya sso nga yali nnungi.

Mu 2013 ng'aggwaako baaleeta Paul Nkata ng’amyukibwa Ibrahim Kirya wabula era ebintu ne bigaana n’afumuulwa mu June wa 2014, ekintu kye twewuunya wadde ng’oluvannyuma twakizuula nti obutakkaanya bw’ava mu bakama baffe. Isabirye yakomawo ogwokubiri era ebintu ne bitamutambulira bulungi wabula mu 2015, Basena n’aweebwa omukisa ogwokubiri nga Kefa Kisaala y'amumyuka.

Basena agobwa Kefa Kisaala ne yeewangulira omulimu era n’awangula Mapinduzi Cup e Zanzibar.

PIKIPIKI YA URA ENNYAMBA

URA yatuwa pikipiki ku looni, ennyambye ennyo mu mirimu gyange. URA tebanja kuba 3,800,000/- zonna nazimalayo era ekola nga boda boda n’emirimu emirala.

NKOLA BEEKEERI:

Ekirowoozo ky'okutandika beekeeri ya keeki nakiggya ku mukwano gwange Nick Kisitu bwe twali ku yunivasite e Makerere gwe namutegeeza nti nninawo akasente akasobola okutandikawo bizinensi.

Twatandika ne 300,000/- nga keeki tuzikolera ku yunivasite ne tuzitunda mu Lumumba Hall. Okuva olwo tetwaddirira kuba bizinensi gye natandika ne 300,000/- kati eri mu bukadde 30 ng’era esangibwa Kazo.

Nagaana okukola emigaati kuba temuli ssente.

Ntandika okulima :

Amagezi g’okulima nagaggya ku kkojja eyatutwalanga mu nnimiro ye ng’atukuutira okumuyigirako mu buli ky’akola ekyampa ekirowoozo ky’okutandika okulima.

Katonda yannyamba ne nfuna poloti entonotono ku bukadde mukaaga e Katende era buli lwe nfuna akadde ng’enda ne ngirambula nga kw’otadde n’okulimirayo kasooli, ebijanjaalo oluusi n’ebirime ebirala mwe nzigya ensimbi.  

Ebikopo bye mpangudde :

  • Mpangudde ebikopo bya liigi 2 mu 2009 ne 2011.
  • Kakungulu Cup 2 mu 2012 ne 2014.
  • Mapinduzi Cup e Zanzibar mu 2015.
  • Super Cup 2: mu 2012 ne 2013.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa