TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Amawanga 80 ge gasuubirwa okwetaba mu za IAAF

Amawanga 80 ge gasuubirwa okwetaba mu za IAAF

By Teddy Nakanjakko

Added 11th July 2016

MINISITA w’ebyemizannyo, Charles Bakabulindi akunze Bannakampala ne Bannayuganda okufaayo okutumbula emisinde gy’ensi yonna egya IAAF World Cross Country Championships ez’omulundi ogwa 42 ezinaabeera mu Kampala omwaka ogujja.

Faith 703x422

MINISITA w’ebyemizannyo, Charles Bakabulindi akunze Bannakampala ne Bannayuganda  okufaayo okutumbula emisinde gy’ensi yonna egya IAAF World Cross Country Championships ez’omulundi ogwa 42 ezinaabeera mu Kampala omwaka ogujja.

Bino minisita Bakabulindi yabyogeredde mu kutongoza logo y’empaka zino ez’okubeerawo nga March 26 omwaka ogujja mu kisaawe e Kololo ku mukoklo ogwabadde ku minisitule ku Mmande.

Abaddusi 750 okuva mu mawanga 80 be basuubirwa okwetaba mu misinde gino wano mu Kampala oluvannyuma lw’empaka za Afrika ezaaliwo  mu 2014.

Logo eno oba akabonero kaliko omusana okulaga ensi yonna nti Uganda erina omukisa okuba nti omusana gwaka omwaka gwonna, kuliko ekibumbe ekiraga obwetwaze bwa Uganda ng’ensi, ensozi eziraga nti Kampala abategesi atudde ku busozi n’abaddusi babiri abali ku kiragala okulaga nti eby’obutonde bifiibwako nnyo era Uganda ddala kkula lya Afrika.

Kampala yawangula okuvuganya okwaliwo ku kibuga ki ekirina okutegeka empaka zino mu November wa 2014 nga baali bavuganya ne Bahrain.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup