TOP

FUFA esaze tiketi z'ogwa Cranes ne Comoros ebbeeyi

By Stephen Mayamba

Added 1st August 2016

TIKETI 2,600 ez’okulaba omupiira gw’okufa n’okuwona nga Uganda Cranes ettunka ne Comoros zisaliddwa ebbeeyi.

Botswana12uganda 703x422

Ttiimu ya Uganda eyatandika omupiira gwa Botswana. Abakutamye okuva ku kkono mu maaso; Denis Guma, Khalid Aucho, Isaac Isinde, Farouk Miya, William Luwagga Kizito ne Tony Mawejje. Abayimiridde emabega okuva ku kkono; Joseph Ochaya, Hassan Wasswa, Denis Onyango, Murushid Jjuuko ne Geofrey Massa.

September 3 e Namboole

Uganda - Comoros

TIKETI 2,600 ez’okulaba omupiira gw’okufa n’okuwona nga Uganda Cranes ettunka ne Comoros zisaliddwa ebbeeyi.

Tiketi zino zitandika okutundibwa enkya ku Mmande nga August 1 okumala ennaku 10 okuttunka nga August 10 wakati w’essaawa ssatu ez’okumakya ne 11:00 ez’olweggulo e Mengo ku kitebe kya FUFA era oluvannyuma lw’ebbanga lino zaakuggyibwa ku katale olwo ez’ebisale ebitongole zitandike okutundibwa.

Ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde FUFA yafulumizza ebisale by’okulaba omupiira ng’ebirinyisizza mu mitendera gyonna.

Tiketi z’okulabira mu lukale bulijjo ezigula 20,000/- zaayongezeddwamu 5,000/- ne zidda ku 25,000/-, ez’ekikungu zaavudde ku 50,000/- ne zidda ku 60,000/- ate ez’abakungu ennyo ne ziva ku 120,000/- ne zidda ku 150,000/-.

Tiketi zino ze zigenda okulaba omupiira gw’okwegezaamu ne Kenya.

Hussein yayongeddeko nti abawagizi abanaabeera baguze tiketi zino baakuzikozesa okulaba omupiira ogw’okwegezaamu wakati wa Cranes ne Kenya nga August 31 era nga baakuziragayo bulazi ku miryango si zaakubaggyibwako nga bayingira ate baddemu bazikozese okulaba omupiira gwa Comoros nga September 3.

Uganda yetaaga buwanguzi obwengeri yonna okeggyako ekikwa ky’emyaka 38 nga tekiika mu mpaka za Africa ez’akamalirizo ezigenda okubeera e Gabon omwaka ogujja.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Patu 220x290

'Twagala Mityana eyegombesa'

Patrick Mugisha ng'ono y'avuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti okukiikirira Mityana North aludde ddaaki...

Pro 220x290

Ddala kiki ekyasse omugagga wa...

OBULWADDE obwasse omutandisi w’essomero lya Kabojja Junior School, bwasooka kucankalanya lubuto, aba famire ne...

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...