TOP

KCCA FC ekansizza abazannyi 2 Villa be yasalako

By Hussein Bukenya

Added 2nd August 2016

KCCA FC eyongedde okwenyweza, bw’ereese abazannyi abalala babiri abalina obumanyirivu okwongera okuggumiza ttiimu yaabwe.

Playersisaacmuleme2april202016 703x422

Isaac Muleme ng'akyagucangira mu Villa. Ono KCCA yamukansizza oluvannyuma lw'okusalwako mu Villa. EKIF: SILVANO KIBUUKA

Eggulo mu gy’Ebika:

Kiwere (9) 2-2 (8)

Nkusu Ffumbe 4-0 Nvubu

KCCA FC eyongedde okwenyweza, bw’ereese abazannyi abalala babiri abalina obumanyirivu okwongera okuggumiza ttiimu yaabwe.

Eggulo ku Mmande, omuzibizi Isaac Muleme n'omuwuwuttanyi Isaac Kirabira bombi SC Villa be yasalako, baatendekeddwa ne ttiimu eno mu kisaawe e Lugogo.

Sizoni ewedde, Kirabira abadde azannyira Saints oluvannyuma lwa Villa okumusalako era KCCA yamuwadde endagaano ya mwaka gumu. Kirabira yategeezezza nti musanyufu okuddamu okufuna ttiimu ennene nga KCCA kuba bulijjo ky’akolerera okuva lwe yava mu Villa.

“Omukisa gwe nfunye sigenda kuguzannyiramu era hhenda kulwanira ennamba mu ttiimu esooka nkakase abagamba nti naggwaamu,” Kirabira bwe yategeezezza.

Okujja kwa Kirabira kwongedde okuvuganya mu kitongole kya KCCA ekiwuwuttanyi olw’abazannyi abangi abakirimu.

Mu kaseera kano balina abawuwuttanyi 12 nga mu ttiimu esooka, Mike Mutebi yeetaagako 3 bokka.

Abawuwuttanyi abalwanira ennamba kuliko; Muzamir Mutyaba, Ivan Ntege, Hakim Ssenkumba, Paul Mucureezi, Farouk Kawooya, Tom Masiko, Jackson Nunda, Suleiman Akinyem, Paul Musamali, Julius Poloto, Edward Kikonyogo ne Emma Magembe.

Muleme sizoni ewedde agizannyidde mu Villa kyokka y’omu ku baagobeddwa ku bigambwa nti yeenyigira mu kutunda emipiira.

Naye yaweereddwa endagaano ya mwaka gumu. Akulira emirimu mu KCCA FC, David Tamale yategeezezza nti ensonga za Krabira ne Muleme zaabadde zikyabulako obuntu butono nti kyokka eggulo baabadde basuubira nti zijja kuba ziwedde.

Tamale yagasseeko nti bombi balungi ate balina obumanyirivu kuba babadde mu ttiimu nnene.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kanta 220x290

‘Muntaase ku baana bange abanzibako...

OMUKADDE ow’emyaka 93 atabuse n’abaana be ng’abalumiriza okubeera mu kkobaane erimugoba ku ttaka lye balyeddize....

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...