TOP

Ochaya agenze South Africa kugezesbwa

By Musasi wa Bukedde

Added 4th August 2016

ENKYA ya leero omuzibizi wa KCCA FC ne Uganda Cranes Joseph Ochaya abitaddemu engatto n'ayolekera South Africa okugezesebwa mu kiraabu ya Bid Vest Wits eyagala okumukansa

Loota1 703x422

Ochaya ng'ajaganya. EKIF; STEPHEN MAYAMBA

BYA MAYIGA MUZAMILU

OMUZIBIZI wa kiraabu ya KCCA, Joseph Ochaya enkya ya leero (Lwakuna) abitaddemu engatto n’ayolekera South Africa gy’agenze okugezesebwa mu kiraabu ya Bidvest Wits, ey’ekibinja ekisooka ekya Premier Soccer League (PSL).

 “Tumanyi Ochaya alina obusobozi okukola obulungi era amatize awatali kubuusabusa. Kyemmanyi okugezesebwa kuno we kunaggwera nga muzanyi wa kiraabu eno,” Ssentebe wa KCCA, Julius Kabugo bwe yategeezezza.

Ochaya yasooka kuzanyirako KCCA mu 2009 ng’ava ku ssomero lya Buddo SS, mu 2010 n’agenda e Vietnam ku kyeyo kyokka ne bitamutambulira bulungi n’akomawo mu KCCA mu mwaka gwe gumu 2010.

Yazannyirako ttiimu y’eggwanga ey’abali wansi w’emyaka 20, eyattunka ne Ghana ng’eno ttiimu ya Asante Kotoko e Ghana we yamulabira n’emukansa.

E Ghana yamalayo emyaka ebiri n’akomawo wano okumala omwaka mulamba nga talina kiraabu okutuuka KCCA ng’etendekebwa Abdallah Mubiru lwe yaddamu okumukansa mu 2014 era mwa’abadde acangira eddiba n’okutuusa kati.

Mu KCCA, yalondeddwa ng’omuzannyi asinze banne okucanga akapiira sizoni ewedde.

Ochaya bw’ayita okugezesebwa kuno, ajja kuba yeegasse ku bazannyi Bannayuganda abenjawulo abazanyiddeko mu liigi ya South Africa okuli; David Obua, Posnet Omony, Ivan Bukenya, Isreal Emuge, Geoffrey Massa kw’ossa ne Denis Onyango Masinde ng’ono sizoni ewedde yalondeddwa ng’omuzanyi eyasinze abakwasi ba ggoolo mu liigi eyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.