TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Proline emezze KCCA n'esitukira mu kikopo

Proline emezze KCCA n'esitukira mu kikopo

By Silvano Kibuuka

Added 8th August 2016

KCCA FC abaategese ekikopo kya Phillip Omondi Pre Season Tournament, ekimaze ennaku biri e Lugogo be bakoobedde mu mpaka ezeetabiddwamu kiraabu nnya oluvannyuma lw’okukubwa emipiira gyombi gye basaambye.

Kccapreseasonfinal10aug7 703x422

Abasambi ba Proline FC nga bajaganyiza ekikopo kya Pre Season. Proline yawangudde KCCA FC ggoolo 3-1 Aug 7 2016. (ekif: Silvano Kibuuka)

Ekikopo kya Phillip Omondi Pre Season:

KCCA 2 (1) Soana 3 (1)

Lweza 1 (1) Proline 3 (1)

Soana 0 Lweza 1

Proline 3 KCCA 1

KCCA FC abaategese ekikopo kya Phillip Omondi Pre Season Tournament, ekimaze ennaku biri e Lugogo  be bakoobedde mu mpaka ezeetabiddwamu kiraabu nnya oluvannyuma lw’okukubwa emipiira gyombi gye basaambye.

Mu kikopo ekisookedde ddala, baayise Proline FC, Lweza FC ne Soana FC nga kyakuzannyibwa buli mwaka okugezesa kiraabu nga zeetegekera liigi.

Proline eyakomeddewo mu kyokusatu mu Azam Super League yazzizza abaali abasambi baayo abaasaliddwako mu mawanga ga Bulaaya n’awala okuli; Yusuf Mbaziira, Ivan Bukenya ne Sula Matovu Maluda abaazinyizza KCCA FC oluguje mu sipiidi n’ekiwago.

Ogwasoose KCCA yatadde abato bangi olwo abakulu ne bajjula mu gwa Proline eyamazeeko n’obubonero 8, Lweza 6, Soana 2 ate KCCA 2 (ku ggoolo entono).

Maneja wa Proline FC, Mujib Kasule yagambye nti bagenda kukolerera kusigala mu liigi sizoni yaabwe esoose okudda olwo balyoke balowooze ku ky’okuwangula ekikopo mu liigi y’eggwanga eya Azam Super League etandika nga August 19.

Mujib eyabadde aduumirira ttiimu ku miggo oluvannyuma lw’okumenyeka ekigere ng’abangula abasambi bamusaayimuto omwezi oguwedde, yasiimye KCCA okuteekawo ekikopo n'agamba nti okuwangula si kye kisinga obukulu.

“Ekikopo kino kiyamba okukunga abawagizi, okuyamba abasambi okumanyiira okuvuganya n’okuzimba enkolagana wakati wa kiraabu,” Mujib bwe yategeezezza.

 Abazannyi; Gift Ali, Joseph Mandela ne Idris Lubega be baateebedde Proline so ng’eya KCCA yateebeddwa Derick Nsibambi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.