TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • URA yeenywezezza: Esonjodde abazannyi 9 okusitukira mu Liigi

URA yeenywezezza: Esonjodde abazannyi 9 okusitukira mu Liigi

By Musasi wa Bukedde

Added 11th August 2016

Kiraabu ya Uganda Revenue Authority eyongedde okwenyweza bw'eyanjudde abazannyi 10 nga yeetegekera sizoni eno etandika nga 19 August.

Ura1 703x422

BYA MUZAMILU MAYIGA

Kiraabu ya Uganda Revenue Authority eyongedde okwenyweza bw'eyanjudde abazannyi 10 nga yeetegekera sizoni eno etandika nga 19 August.

Abazannyi b'eyanjudde mulimu Abanigeria babiri okuli; Harry Frank gwe baggye mu Heegan FC eya Ethiopia ne Ibbe Emmanuel Obina abadde azanyira mu Mathare United eya Kenya kw'osa Bokota Labama Bovis abadde azanyira mu Muhanga fc nga eno  yasaliddwako mu kibinja ekisooka ekya Rwanda.

 bazannyi abapya  besonjodde Abazannyi abapya URA b'esonjodde

 

Abalala be baleese kuliko; Nafian Ajaib Alionzi abadde omukwasi wa ggoolo ya Onduparaka, Fred Okot ne Julius Mutyaba ababadde mu Lweza, Hood Mulik gwe baggye mu Maroons, Fahad Kawooya abadde mu Saints wamu ne Richard Wandyaka ne JMC.

Abaleeteddwa basikidde abazannyi okuli; Sulait Luyima, Brian Bwete, Sam Ssenkoomi, Derrick Tekkwo, Robert Ssentongo, Yayo Lutimba n’abalala abaasaliddwaako mu kiraabu eno.

“Tulina okukiriza nti abazannyi be tuleese balina obusobozi okutuwangulira ebikopo sizoni eno waakiri ekimu naye bajja kukola bulungi,” Omutendesi Keefa Kisala bw'annyonnyodde mu kwanjula abazannyi bano leero ku Lwokuna.

 

Ssentebe wa URA, Ali Ssekatawa ategeezezza nga bwe bagenda okwongerayo abazannyi abalala babiri okwongera okunyweza ttiimu eno.

“Twagalayo omuwuwuttanyi n’omuteebi omu tubagatte ku be tuleese olwo tujojobye buli ttiimu enaatusala mu maaso,” Ssekatawa bwe yaggumizza.

Omwaka oguwedde, URA yamalira mu kifo kyakutaano mu liigi ya Azam ate sizoni ba00ggulawo na kukyalira Kirinnya Jinja SS.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.