TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Amasomero 32 gagenze Kenya kwetaba mu mpaka z'amawanga g'Obuvanjuba bwa Afrika

Amasomero 32 gagenze Kenya kwetaba mu mpaka z'amawanga g'Obuvanjuba bwa Afrika

By Silvano Kibuuka

Added 25th August 2016

Minisita w’eggwanga ow’emizannyo, Charles Bakkabulindi asiibudde bamusaayimuto ba Uganda abasobye mu 150 okuva mu masomero 32 abagenze e Kenya okuvuganya mu mpaka z’amasomero g’obuvanjuba bwa Africa ezimanyiddwa nga East Africa Secondary Schools Sports Association.

Schoolsoffminister1 703x422

Minisita w'emizannyo Charles Bakkabulindi ng'akwasizza bakapiteeni ba ttiimu za Uganda ez'abayizi abagenda mu mizannyo gya East Africa Aug 24 2016. (Ekif:Silvano Kibuuka)

Minisita w’eggwanga ow’emizannyo, Charles Bakkabulindi asiibudde bamusaayimuto ba Uganda abasobye mu 150 okuva mu masomero 32 abagenze e Kenya okuvuganya mu mpaka z’amasomero g’obuvanjuba bwa Africa ezimanyiddwa nga East Africa Secondary Schools Sports Association.

Empaka zino za mulundi gwa 15 nga zigenda kubumbujjira mu kibuga Eldoret ekya Kenya era ziggyibwako akawuuwo enkya ku Lwokutaano nga bavuganya mu mizannyo egitali gimu okumala wiiki bbiri.

Bwe yabadde akawasa ba kapiteeni Maureen Banura (ow’abawala) ne Samuel Oweka (o’wabalenzi) bendera, Minisita yabakuutidde okwerabira ebyabadde mu Brazil Uganda bw’etaawanguddeyo mudaali wabula bakolerere okwesasuza eri Bannakenya b’agamba nti baatutte omudaali gwa Stephen Kiprotich.

Bagenze kuvuganya mu mupiira gw’abalenzi, okubaka, basketball, volleyball, okuwuga, rugby, ttena y’oku mmeeza , okudduka n’emizannyo gy’omu kisaawe omuli; okubuuka, okukasuka ennyago n’emirala.

Ekibinja kya Uganda kikulembeddwa Haji Ali Mugagga, akulira essomero lya Kibuli Muslim SSS.

“Tusuubira okuvuganya okw’amaanyi mu mizannyo gino. Uganda tulonze ttiimu ez'amaanyi nga bazze bavuganya mu mizannyo gy’amasomero era tututte ezo zokka ezaawangula,” Justus Mugisha, pulezidenti w’ekibiina kya East Africa Secondary Schools Sports Association bwe yategeezezza.

Buli ssomero lyefunira entambula erituusa mu mpaka e Kenya ttiimu gye zigenda okwegattira okuvuganya.

Uganda yategeka empaka zino mu 2014 ate ng'omwaka oguwedde zaabadde Bujumbira mu Burundi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda