TOP

Khalid Aucho akutudde ddiiru e South Afrika

By Hussein Bukenya

Added 26th August 2016

OMUWUWUTTANYI wa Cranes, Khalid Aucho ebitaala bimutadde! Akutudde ddiiru ne Baroka FC ezannyira mu liigi South Afrika.

Khalidaucho703422 703x422

Khalid Aucho

OMUWUWUTTANYI wa Cranes, Khalid Aucho ebitaala bimutadde! Akutudde ddiiru ne Baroka FC ezannyira mu liigi South Afrika.

Aucho, yakoze endagaano ya myaka esatu nga waakuzannya ne kapiteeni wa Cranes, Geoffrey Massa naye eyeegasse ku ntiimu eno ku ntandikwa ya sizoni eno ng’ava mu Bloemfontein Celtic.

Gye buvuddeko, Aucho abadde agezesebwa Aberdeen eya Scotland kyokka ne batakutula. Okukansibwa kwa Aucho kutuukidde mu kaseera ng’omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic yaakamuyita ku bazannyi abeetegekera Comoros nga September 4 mu z’okusunsulamu abanaazannya ez’Afrika omwaka ogujja.

“Nneebaza Katonda nti abakungu ba Baroka bandabyemu ekyama era ng’enda kwekuumira ku mutindo mbawe kye bansuubiramu,” Aucho bwe yategeezezza ng’ayita ku mukutu gwa yintaneeti ogwa Futaa.com ogufulumira e Kenya.

Omupiira yagutandikira mu Jinja SS, Simba n’agenda e Kenya mu Tusker FC ne Gor Mahia gy’abadde.

Eggulo (Lwakuna), Cranes lwe yatandise okutendekebwa wabula Aucho asuubirwa kugyegattako ku Lwomukaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.