TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Cranes ng’enda kugituusa mu nsi ensuubize - Micho

Cranes ng’enda kugituusa mu nsi ensuubize - Micho

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd September 2016

NE bwe nfa enkeera nga Uganda emaze okuwangula Comoros n’eyitawo okuzannya ez’Afrika sikirinaako mutawaana kuba nja kuba nfudde nga muzira.

Tawo 703x422

Micho (ku ddyo) ng’awa abazannyi ba Cranes ebiragiro mu kutendekebwa e Kabojja ku Lwokusatu.

Ssande mu z’Afrika e Namboole: Uganda - Comoros 11:00

NE bwe nfa enkeera nga Uganda emaze okuwangula Comoros n’eyitawo okuzannya ez’Afrika sikirinaako mutawaana kuba nja kuba nfudde nga muzira.

Ebyo bye bigambo by’omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic by’agamba nti ku mupiira gwa Ssande era aweze nti tagenda kudda mu nsobi ezaaliwo mu kampeyini eziwedde Cranes n’eremwa okuyitamu.

Ku Ssande, Cranes erina kumegga Comoros okuyitamu okwesogga ez’Afrika ezinaabeera e Gabon eyitewo okugenda mu z’Afrika omwaka ogujja e Gabon.

Micho yategeezezza nti, mutendesi mugundiivu mu Afrika era awangudde ebikopo ne kiraabu ez’enjawulo nga ky’abuzaayo kwe kuwangula Comoros ayingire mu byafaayo bya Uganda.

“Ebizze bibaawo tulina okubyerabira, omulamwa omukulu kati gwa kuyisaawo ttiimu era nsuubira nti tujja kukisobola,” Micho bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti tatunuulidde kufuna kitiibwa kyokka wabula ayagala n’abazannyi ba Uganda bafune ttiimu ezibagula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.