TOP

Bamusaayimuto bagenda kulaga ebitone mu Cricket

By Silvano Kibuuka

Added 2nd September 2016

Empaka za Cricket w’amasomero ga ssiniya ag’abalenzi ezituumiddwa Pepsi and Bankstown Cricket Club Sydney zirangiriddwa okutandika ku Lwokumaaga luno zikomekerezebwe nga September 9.

Cricketpepsiboysschoolslaunch1 703x422

Abamu ku bayizi abagenda okwetaba mu mpaka za Cricket wa Pepsi Boys Schools Cricket Week nga balaga ebikopo n'ebimu ku bikozesebwa bwe babadde batongoza empaka zino eza buli mwaka.

Empaka za Cricket w’amasomero ga ssiniya ag’abalenzi ezituumiddwa Pepsi and Bankstown Cricket Club Sydney zirangiriddwa okutandika ku Lwokumaaga luno zikomekerezebwe nga September 9.

Amasomero 12 okuva nga ge gaawangudde empaka za ‘lijoni’ ezeetabiddwaamu amasomero 31 ge gagenda okuvuganya mu nzannya ez’akamalirizo nga zigenda kuzannyirwa ku bisaawe bitaano.

Bino kuliko Lugogo, Kyambogo, King College Buddo (ku bisaawe bibiri) ne Gayaza High nga ttiimu zaakusuzibwa ku ssomero lya Makerere College School.

Amasomero agaayiseemu okuva mu Central Region ye Kololo SSS, Ndejje SSS, Rainbow International, Mukono Parents School ne King College Buddo.

Mu Bugwanjuba waavuddeyo Ntare School ne Nyakasura School so nga mu Buvanjuba wavuddeyo Jinja SSS, St. James SSS ne Busoga College Mwiri, abaakiwangula omwaka oguwedde.

Okuva mu ‘ligoni’ ya Soroti wavuddeyo Teso College Aloet nga kwe kwegasse Masaka SSS okuva mu Bugwanjuba obw’amaserengeta.

Akulira enzirukanya y’emirimu mu Uganda Cricket Association, Justine Ligyalingi agambye nti mu mpaka zino bagenda kulondamu ttiimu emu eneetwalibwa e Kenya okuvuganya n’eneeba erondeddwa okuva era mu mpaka z’amasomero okuva mu ggwanga eryo.

“Empaka era zijja kuganyula nga tulondamu abazannyi ba ttiimu z’eggwanga okuli ey’abali wansi w’emyaka 17 ne 19 ne kiraabu zironde abazannyi abanaazannyira ttiimu za liigi,” Ligyalingi bw’ategeezezza.

Empaka ze zimu ez’abawala zaazannyibwa mu luwummula lwa ttaamu esooka.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Kenya okutukuba tejja kutulemesa...

ABAWAGIZI ba Rugby aba ttiimu ya Uganda baasoose kukuba nduula za luleekereeke nga balowooza nti ttiimu yaabwe...

Mazike 220x290

Fresh Daddy abawala batandise okumwerippa...

OBWASSEREEBU tebuva wala naye ne Fresh Daddy manya taata wa Fresh Kid bwe yayimbye ‘Mazike’ kati takyava mu bbaala...

Soma 220x290

‘Abaami mmwe mutabangula amaka’...

ABAKULEMBEZE n’abatuuze mu tawuni kanso y’e Luuka boolese obwennyamivu olw’omuwendo gw’amaka agasasika okweyongera...

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...