TOP

Cranes erinze ssaawa: #MujjeTulumbe

By Hussein Bukenya

Added 3rd September 2016

“BANNAYUGANDA basusse okukaaba amaziga, kumpi buli kampeyini omupiira ogusembayo baguwanda lulusu.

Lumba 703x422

(Ssande) mu z’Afrika: Cranes - Comoros, 11:00 SS9 Ebisale: 25,000/-, 50,000/- ne 150,000/-

“BANNAYUGANDA basusse okukaaba amaziga, kumpi buli kampeyini omupiira ogusembayo baguwanda lulusu.

Leero ku (Ssande) mbasuubiza nti tekigenda kubaawo, bajje mu bungi e Namboole babeerewo ng’abajulizi nga tuwangula Comoros tubasasule ebyatusobako emyaka egiyise.

Bino bye bigambo bya kapiteeni wa Cranes,” Geoffrey Massa bye yayogedde ng’agumya abawagizi nti bagenda kuwangula Comoros bagende mu mpaka z’Afrika.

Cranes omupiira gwayo ne Comoros egwetaagamu buwanguzi bwokka eyitawo okuzannya ez’Afrika ez’akamalirizo omwaka ogujja e Gabon.

Cranes ne Burkina Faso balina obubonero 10 buli omu mu kibinja D, nga kye yeetaaga kwe kuwangula eyitewo ng’emu ku ttiimu ezikutte ekyokubiri ezisinze okukola obulungi sso ng’erina n’omukisa okukulembera ekibinja ssinga Burkina Faso eremwa okuwangula Botswana gy’ekyaza.

“Sisitiimu gye tugenda okuzannya ya kuwangula Comoros, tewali kye tugenda kunnyonnyola bawagizi nga tulemeddwa omulundi omulala. Tukoze buli ekyetaagisa okuwangula Comoros era nsuubira abawagizi baakufa esannyu kuba ekiri ku mitwe gyaffe kya kuyitawo,” Massa bwe yayongedde okuwera.

Omutendesi Micho Sredojevic yagambye nti, akoze buli kimu okulaba nga ttiimu ewangula era alinze ssaawa ayungule amagye gafufuggaze Comoros nti kuba tewakyali ky’ayongerako.

“Tewali atayagala kuyingira mu byafaayo, okutwala ttiimu mu z’Afrika buli muntu ky’akolerera, tetuyinza kusaagira mu mukisa guno era nsaba abazannyi bazannyira ku mutindo gwe babaddeko bukya kampeyini eno etandika,” Micho bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere

Kab1 220x290

Aboolugave baakununula obutaka...

Aboolugave baakununula obutaka bwabwe