TOP

Denis Onyango awangudde eky'omuzannyi wa USPA

By Silvano Kibuuka

Added 7th November 2016

Bannamawulire abasaka ag’emizannyo balonze omukwasi wa ggoolo ya Cranes, Denis Onyango Masinde ku buzannyi bwa October ng’awangudde banne basatu bwe basindanye mu kulonda okubadde e Lugogo ku Tennis Courts.

Denisonyangomameodisundownsxykfdodifv1p1v2wkwl19esi9 703x422

Bannamawulire abasaka ag’emizannyo balonze omukwasi wa ggoolo ya Cranes, Denis Onyango Masinde ku buzannyi bwa October ng’awangudde banne basatu bwe basindanye mu kulonda okubadde e Lugogo ku Tennis Courts.

Onyango awangudde n’obululu 675 nga bamusiimye olw’okubeera Munnayuganda asoose okuwangula omudaali gwa zaabu CAF Champions League oluvannyuma lwa kiraabu ye eya Mamelodi Sundown okuwangula Zamalek eya Misiri ku fayinolo.

Onyango addiriddwa ttiimu ya basketball eya City Oilers ng’eno yawangudde ekikopo kya Africa Zone 5 ng’efunye obululu 470 n’eddirirwa ttiimu y’eggwanga eya golf eyawangudde ekikopo kya East Africa.

Eno efunye obululu 465 ate omuzannyi wa pool, Sula Matovu eyawangudde empaka za Nile Special National Open Pool Championships yakutte kyanuna ku bubonero 330.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana