TOP

Minisita Bakkabulindi asiimye emirimu gya NCS

By Musasi wa Bukedde

Added 17th December 2016

CHARLES Bakkabulindi Minisita omubeezi ow’emizannyo asiimye akakiiko ka National Council of Sports (NCS), akaddukanya emizannyo mu ggwanga olw’omulimu ogw’ettendo okuzza ebyemizannyo mu ggwanga ku mulamwa.

Bakkabulindi 703x422

Charles Bakkabulindi minisita omubeezi ow'emizannyo ng'ayogera eri abagenyi abeetabye ku kabaga akamalako omwaka akaategekeddwa ku woteeri ya Grand Imperial ku Lwokutaano nga December 2. (STEPHEN MAYAMBA)

CHARLES Bakkabulindi Minisita omubeezi ow’emizannyo asiimye akakiiko ka National Council of Sports (NCS), akaddukanya emizannyo mu ggwanga olw’omulimu ogw’ettendo okuzza ebyemizannyo mu ggwanga ku mulamwa.

Bakkabulindi okusiima kuno yakukoledde ku kabaga akamalako omwaka akaategekeddwa NCS ku woteeri ya Grand Imperial ku Lwokutaano nga Deceber 16 nga keetabiddwaako ebibiina byonna ebyamaliriza emisoso gy’okwewandiisibwa era ne bikakasibwa wamu n’ebyo ebinaatera okumaliriza.

‘Ndi musanyufu n’omulimu ogukoleddwa NCS era kati ndaba gye tugenda tulabayo. Mpa amagezi abaddukanya emizannyo gino okweyambisa nnyo NCS kubanga yeebavunaanyizibwako nga nze bwe ngivunaanyizibwako. Twetaaga okukolera awamu nga ttiimu bwe tuba baakutuuka ku kiruubirirwa kyaffe okufuula Uganda kirimaanyi mu mizannyo,” Bakkabulindi bwe yategeezezza.

Yagenze mu maaso n'asiima abakulembeze b’ebibiina ebiddukanya emizannyo olwokukolera ku bugubi nga tebalina ssente zimala kukola ku byetaagisa byonna wabula ate ne bateekateeka bannabyamizannyo abaweesa eggwanga ekitiibwa nga bawangula emidaali n’ebikopo buli lwe bagenda okukiikirira eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....