TOP

Gavumenti ewadde Cranes obuwambi 4

By Hussein Bukenya

Added 24th December 2016

GAVUMENTI egobezza FUFA embalirira y’obuwumbi omukaaga bwe yali esabye okulabirira Cranes eyeetegekera empaka z’Afrika, n’egiwa obuwambi buna.

Buta703422 703x422

Micho

GAVUMENTI egobezza FUFA embalirira y’obuwumbi omukaaga bwe yali esabye okulabirira Cranes eyeetegekera empaka z’Afrika, n’egiwa obuwambi buna.

Gye buvuddeko, FUFA yakola embalirira ya buwumbi 6 n’egiwa Gavumenti ebayambeko ku nteekateeka z’okutwala Cranes e Gabon mu mpaka z’Afrika kyokka eggulo akulira ebyensimbi mu FUFA, Dicholas Kiiza yategeezezza nti Gavumenti yabasuubizza obuwumbi 4 nga zino kuliko okusasulira emisoso gy’abazannyi bonna okuli n’akasiimo.

OMUPIIRA GWA LIBYA GUGGYIDDWAAWO

Mu mipiira etaano Cranes gy’ebadde erina okuzannya egy’omukwano ng’empaka z’Afrika tezinnatuuka, ebiri ku gyo gisaziddwaamu.

Kuno kuliko ogwa Libya n’ogwa Gabon era omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic, agamba nti akizudde ng’emipiira gino tegirina kye gigenda kubongerako ng’era tekibayamba kugenda Gabon okuzannya ogw’omukwano ate bamale baveeyo ate baddeyo kuba empaka z’Afrika gye zigenda okubeera.

Kati Cranes yasigazizza emipiira esatu gy’erina okuzannya okuli; Tunisia nga January 4, Slovakia nga January 8 ne Ivory Coast nga January 11.

“Siraba nsonga lwaki twemalira ennyo mu kuzannya egy’omukwano nga bannaffe be tuvuganya nabo bagenda kuzannyayo omupiira gumu. Embeera abazannyi bange gye balimu empadde amaanyi nti ne bwe tutazannya mipiira gya mukwano mingi tuyitawo,” Micho bwe yategeezezza olukiiko lw’abaamawulire eggulo Lwokuna ku kitebe kya FUFA e Mengo.

Kigambibwa nti Gavumenti okusala ku ssente z’ewa Cranes, kye kyawalirizza FUFA okusazaamu emipiira gino nti kuba ssente ze balina tezibamazaako. Mu ngeri y’emu, leero ku Lwokutaano, Micho lw’agenda okusalako abazannyi munaana.

Micho yayita abazannyi 41 nga mu kaseera kano mu nkambi waliyo 29 ng’abalala 12 abaguzannyira ensimbi basuubirwa kutuuka ku nkomerero ya wiiki eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.