TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Omwaka ogujja tetujja kuddamu kudaaga na bisaawe - Lawrence Mulindwa

Omwaka ogujja tetujja kuddamu kudaaga na bisaawe - Lawrence Mulindwa

By DAVID KIBANGA

Added 24th December 2016

ESSAAWA yonna, ekisaawe Vipers ky’ezimba, kiggyibwako engalo era February w’anaatuukira, nga tebakyadaaga na we bakyaliza mipiira gyabwe.

United 703x422

Mulindwa ng’alambuza abantu ekisaawe ebweru waakyo. Ku ddyo, Ekisaawe bwe kifaanana munda.

ESSAAWA yonna, ekisaawe Vipers ky’ezimba, kiggyibwako engalo era February w’anaatuukira, nga tebakyadaaga na we bakyaliza mipiira gyabwe.

Mu lukiiko lwa bannamawulire, nnannyini Vipers, Lawrence Mulindwa lwe yatuuzizza e Kitende ekisaawe gye kisangibwa, yakakasizza nga buli kimu bwe kikyatambula obulungi mu budde bwennyini bwe baali bakisuubiramu era ekisaawe kinaatera okuggwa.

“Emirimu gitambula bulungi, era be twakwasa omulimu bagukola bulungi. February anaagenda okutuuka nga ttiimu zaffe zisobola okuzannyirawo mu mbeera ey’omulembe eri ku mutindo nsi yonna.” Mulindwa bwe yategeezezza.

Olw’okuba nti omulimu gw’ekisaawe kino munene nnyo, Mulindwa yasabye Gavumenti ebakwasizeeko ng’ebateerawo embeera eyinza okubayamba okukendeeza ku ssente ze basaasaanya ku mirimu nga gino eminene.

“Olaba Gavumenti eyamba abagwira abatandikawo obuduuka bwa supamaketi, lwaki bannansi abataddewo ekintu ekitabangawo mu ggwanga, ng’omuntu ssekinnoomu azimba ekisaawe ekinene nga kino tebayamba? Tetwetaaga ssente enkalu naye ebintu ng’okutuyamba ne twewola ssente ku magoba amatono oba obutabeererako ddala kye kimu ku bintu Gavumenti by’esobola okututasaamu kuba ebisobola.” Mulindwa bw’agamba.

Kyokka bwe yabuuziddwa ssente ze yaakasaasaanya ku mulimu guno, yagaanyi okwogera n’ategeeza nti omulimu gukyagenda mu maaso nga tayinza kuzaatuukiriza kati.

Mu ngeri y’emu, Mulindwa yeebazizza Cranes olw’okumalako Bannayuganda ekikwa ky’emyaka 38 nga teyitamu kukiika mu z’Afrika nga kino kye kintu kye yanokoddeyo ng’ekisinze okumuwa essanyu mu 2016.

“Ttiimu yaffe y’amaanyi era nkakasa egenda kukola bulungi. Tulina kugiteekateeka bulungi nga ffenna be kikwatako tufaayo ekimala. Abawagizi baffe mbasaba bagende e Gabon mu bungi basobole okwongera okuwagira ttiimu yaffe eno.” Mulindwa bw’agamba.

Yakomekkerezza ayagalizza Bannayuganda Ssekukkulu ennungi n’omwaka 2017 ogw’essanyu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiika...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Kip2 220x290

Abazigu balumbye omusomesa ne bamusalako...

Abazigu balumbye omusomesa ne bamusalako obulago

Full1 220x290

Abawagizi ba Kenzo beesunga kumwaniriza...

ABAWAGIZI ba Eddy Kenzo ab'omunda, leero basiibye beetala nga beetegekera okumwaniriza.