TOP

SC Villa esazeeko abazannyi 4

By Hussein Bukenya

Added 26th December 2016

Abaagobeddwa kuliko; Mousa Ballo, enzaalwa y’e Ivory Coast, Omubrazil Franco Tiago ne Jerome Sina enzaalwa ya Rwanda.

Gendayo 703x422

Abamu ku bazannyi ba SC Villa

NGA waakayita ennaku bbiri nga Express efuumudde abazannyi 10 olw’omutindo ogw’ekibogwe, ne SC Villa egobye bana okuli ne kapiteeni waayo Mike Sserumaga n’abazannyi abagwira basatu.

Abaagobeddwa kuliko; Mousa Ballo, enzaalwa y’e Ivory Coast, Omubrazil Franco Tiago ne Jerome Sina enzaalwa ya Rwanda.

Sserumaga yeegatta ku Villa mu makkati ga sizoni ewedde bwe yali ava mu Lweza kyokka gye buvuddeko yavuddeyo n’ata akaka nga Villa bw’eterina ky’emwongeddeko okuggyako okumukonya.

Maneja wa ttiimu eno, Vally Mugwanya yategeezezza nti abazannyi bano baalemeddwa okulinnyisa omutindo kwe kusalawo obutazza ndagaano zaabwe buggya kuba zaabadde ziweddeko.

“Twakkaanyizza abazannyi bano tubawe omukisa okugenda awalala kubanga ffe tukizudde nti tebajja kutuyamba. Kituufu endagaano zaabwe zaabadde ziweddeko nga tulaba okubongera endala nga n’ezisoose tebalina kye batukoledde kiba kikyamu,” Mugwanya bwe yategeezezza.

Villa yaakubiri mu Azam Premier League n’obubonero 31 emabega wa KCCA ekulembedde ku 32.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...