TOP

Ebintu 9 ebinaayamba Cranes mu AFCON

By DAVID KIBANGA

Added 14th January 2017

WILLIAMS DAVID KIBANGA akulaga ebimu ku bintu ebiyinza okuyamba Cranes okweggyako situleesi.

Cranes1 703x422

Tonny Mawejje (ku kkono), Luwagga Kizito, Nicholas Wadada ne Farouk Miya nga beekuba ‘selfie’.

BULI kimu kikoleddwa ekikwata ku byekikugu ku ludda lwa Cranes mu kaweefube mu kibinja, ekikoze. Ezannye emipiira gy’omukwano, omutendesi abawadde obukodyo obw’enjawulo n’abasawo bajjanjabye.

Naye mu mupiira waliwo ebintu ebikolebwa nga si bya kikugu, kyokka nga biyamba okukkakkanya obwongo bw’abazannyi ne balema okubeera ku bunkenke nga balowooza ku mupiira gwe bagenda okuzannya. 

Okukuba essimu awaka:

Mu World Cup eyaakaggwa, omutendesi wa Girimaani yayita abakazi b’abazannyi be ne bamala mu nkambi ennaku 2, bwe baali beetegekera fayinolo ne Argentina. Nga baakamegga Argentina 1-0, bakazi baabwe n’abaana bonna beesogga ekisaawe okujagulizaako babbaabwe.

Mario Gotze eyateeba ggoolo eno, yategeeza nga bwe yali tasobola kukikola singa famire ye teyaliwo.

Bakazi b’abazannyi bangi tebagenda kubeera Gabon kyokka kyandibadde kya makulu abakulembera Cranes okukola kyonna ekisoboka okulaba nga buli muzannyi abeera n’obusobozi obukuba essimu awaka mu kiseera naddala ng’enkeera mupiira.

Okuwulira ku ddooboozi ly’omukyala, omwana oba maama, kukkakkanya emyoyo gy’abazannyi kubanga ebiseera bingi abantu abamu obuvumu babufuna boogedde ne be baagala.

Okuwuliriza ku nnyimba:

Abazannyi batera okulabwa nga bambadde ‘headphones’ ku mitwe, era ebiseera ebisinga baba bawuliriza nnyimba.

Buli omu alina ekika ky’oluyimba olumukkakkanya. Abamu baagala nseeneekerevu ate abandi ezikuba ennyo. Gano tegaba malala, wabula bakikola okukkakkanya puleesa.

Abakugu bagamba nti ennyimba ziyamba okuggya ebirowoozo ku kintu ky’oba ogenda okukola, wadde tokyerabirira ddala.

Abazannyi ba Cranes balina obuzindaalo buno era kyandibadde kirungi ne babukozesa.

Okwebaka ekimala:

Abasawo bagamba nti omuntu okuwummula obulungi, alina okwebakira essaawa ezitakka wansi wa munaana.

Okwebaka tekukoma ku kuwummuza bwongo n’omubiri gw’omuntu, wabula kuyamba ne mu kukkakkanya omutima.

Buli omutima lwe gubeera nga mukkakkamu, omuntu afaayo nnyo ku ky’abeera akola era tatera kukola nsobi.

Mu kaseera nga kano nga Cranes yeetegekera Ghana gy’eggulawo nayo (January 17), kyandibadde kirungi abazannyi okwebaka ekiseera ekiwanvu kiyambe emitima gyabwe okukkakkana.

Okulya emmere entuufu:

Eky’okuba nti abazannyi b’omupiira balina okulya ennyo tekitegeeza nti buli kafankunaali abayita mu maaso balina okumussa mu lubuto. Mu kiseera kino omuzannyi alina okwetegereza n’okwegendereza by’assa mu lubuto.

Cranes yettanire nnyo omukugu mu byendya abayambe okumanya emmere entuufu gye balina okulya, kuba Bannayuganda bajja kuwulira bubi nnyo singa kifulumizibwa nti Farouk Miya oba omulala yenna tazannye lwa lubuto kumuluma.

Okusa ba Katonda:

Mu buli ddiini, Omusiraamu, Omukulisitaayo, Omukristu, Omwadiventi, Omulokole oba endala yonna omuntu yeetaaga Katonda buli kadde.

Abazannyi balina okusaba Katonda, okumwegayirira n’okumwebaza olw’ebirungi byonna by’abakoledde.

Okwogera ne Katonda kikkakkanya obwongo n’okuwa omuntu emirembe, ebintu Cranes bye yeetaaga ennyo mu kiseera kino.

 unus entamu ku kkono arouk iya ne alim amal mu biseera byabwe ebyeddembe Yunus Sentamu (ku kkono), Farouk Miya ne Salim Jamal mu biseera byabwe eby’eddembe.

 

PULEESA Y’OMUTENDESI:

Abatendesi batera okufalaasira abazannyi ekisusse olwa puleesa gye babeera (abatendesi), bawulira.

Gye bikkira nga puleesa eno ebbulukukidde mu bazannyi ekiyinza okubaggya ku mulamwa. Kino ekiseera kya ‘kusala puleesa’, omutendesi alina okunyumyamu n’abazannyi mu ngeri enzikakkamu.

Emabegako omutendesi wa Cranes, Micho yateekanga eyali kapiteeni Andy Mwesigwa ku puleesa, nga buli kiseera amubuuza oba amaze okuwagala bazannyi banne.

Nga Cranes eneezannya, Micho emmere emulema, sso nga n’otulo tumubula. Ebintu nga bino alina okubyewala, aleme kuteeka bazannyi ku bunkenke.

OKUZANNYA KU MIZANNYO EMIRALA:

Ekimu ku bintu Jose Mourinho, atendeka ManU, by’atera okukuutira abazannyi kya kuzannya ku buzannyo obw’enjawulo nga beetegekera omupiira omunene.

Muno mubaamu okuzannya matatu, obuzannyo ku kompyuta zaabwe (video game) n’emirala. Olw’okuba tozannya wekka, kikuyamba okusaagamu ne banno ne kimalawo n’obutakkaanya oluusi bwe muba mwafunidde mu kutendekebwa.

Cranes nayo esobola okuzannya ku buzannyo nga buno.

Omusawo okubakwa ta mu binywa :

Tekigaana musawo Ronald Kisolo ne ttiimu ye kukwata mu binywa by’abazannyi oba kiyite masaagi.

Masaagi ayamba okukkakkanya ku mubiri naddala mu binywa olwo abazannyi ne bagenda mu kisaawe nga tebalina buzibu, sso nga kibayamba n’obutalwalira mu kisaawe.

ABAKU GU MU KUBUD AABUDA ABANTU:

Buli muntu yeetaga omuntu amuzzaamu amaanyi mu mbeera yonna. Ate bwe kituuka ku muntu alina ky’asuubira wabula nga teyeekakasa oba anaakisobola oba okukifuna, yeetaagira ddala omuntu ow’ekika kino.

Cranes emanyi nti ekibinja kye yassibwamu si kyangu, ng’engeri gye bayinza okweyongera essuubi kwe kwogera n’omuntu ng’ono n’ayongera okukikkaatiriza nti buli kimu kisoboka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev2 220x290

Museveni asisinkanye Abasumba ba...

Museveni asisinkanye Abasumba ba Klezia okuva mu Afrika

Kab2 220x290

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya...

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya mu bwavu-Museveni

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya