TOP

Dr. Ashraf aweze okuliisa Ssebuguzi enfuufu

By Nicholas Kalyango

Added 26th January 2017

DR. AHMED Ashraf, kyampiyoni wa mmotoka z'empaka ow'omwaka 2008, alaalise bavuzi banne mu ggwanga nti ke yafunye omusomi wa maapu omupya beerinde okulya enfuufu ye.

Music 703x422

Mmotoka Subaru N16 Dr. Ashraf gy'agenda okuvuga sizoni eno. Asooka mu katono ye Ronald Ssebuguzi

"Mmotoka empya kati ngimanyidde n'omusomi wa maapu mupya. Eby'okwesaasira biweddewo sigenda kuweera okutuusa nga mpangudde engule y’omwaka guno," Dr. Ashraf bwe yaweze enkolokooto.

Rahmah Mohammed, gwe yakansizza okumusomera maapu sizoni eno. "Omwana nfunye muto kati bannanfe balonde okulya enfuufu," bwe yagasseeko.

Kalenda ya sizoni eno, etandika ku Lwamukaaga n’empaka z’e Mbarara (MMC Mbarara Rally) ng’abavuzi 48 be bakakasizza okuzeetabamu.

Zitandika n'oluvuga olw'akafubutuko ku kisaawe ky’e Kakyeka.

Ng’oggyeeko Ponsiano Lwakataka (mu 2013), Duncan Mubiru (2014 ne 2015) ne Ronald Ssebuguzi (2016), abavuzi abazze bawangula empaka z’e Mbarara be beetissenga engule ya NRC.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja