TOP
  • Home
  • Rally
  • Abawagizi balidde ebitoomi mu mmotoka z’empaka e Mbarara

Abawagizi balidde ebitoomi mu mmotoka z’empaka e Mbarara

By Musasi wa Bukedde

Added 30th January 2017

NNANTAMEGGWA wa mmotoka z’empaka owa 2006, 2009 ne 2014, Ronald Sebuguzi, aweze okufiira ku bavuzi banne awangule engule ya NRC omwaka guno.

Partion 703x422

Mayanja ng’ayiribya mmotoka eggulo.

Abaakulembedde:

1. Omar Mayanja 1.51.26

2. Ronald ssebuguzi 1.53. 29

3. Duncan Mubiru 1.56.10

4. Christakis Fitidis 1.59.08

5. Ambrose Byona 2.01.05

Okuva mu 2014 lwe yawangula engule eno, Sebuguzi ayagala kugiwangula mulundi gwakuna kyokka kikyamulemye okutuukiriza. Wadde nga yakutte kyakusatu mu mpaka za MMC Mbarara Rally eggulo, Sebuguzi agamba nti entandikwa eno teyabadde mbi era tagenda kuddiriza mu mutindo gwe yalaze.

Sebuguzi yabadde n’omukisa okuwangula empaka zino kyokka yabonerezeddwa olw’obutamalaako ez’omwetooloolo ku Lwomukaaga ku kisaawe e Kakyeka.

Mmotoka ye yafunye obuzibu n’emira amazzi olwa nnamutikwa w’enkuba eyafudembye. Enkuba eyafudembye okumala ennaku bbiri, teyalobedde bawagizi bakira abagumira ebisooto, bakira mmotoka ze bifuumuula.

Sebuguzi yazze engulu ku lunaku olwokubiri n’amalira mu kifo ekyokubiri ku bubonero 80. “Enkuba yasoose n’etulemesa ku lunaku olwasoose ne nnemwa okumalira mu bifo 12 ebisooka.

Wabula olunaku olwokubiri (Ssande) nataddewo omutindo ne mmalira mu kyokubiri. Ng’enda kukozesa omukisa gw’obubonero bwe nafunye okulaba nga nsitukira mu ngule y’omwaka guno,” Ssebuguzi bwe yagambye.

Mu mpaka ze zimu, nnantameggwa wa 2016, Jas Mangat ne Hassan Alwi (eyamuddirira) tebaamazeeko olwa mmotoka zaabwe okufa mu lukontana olusembayo.

Omar Mayanja ye yawangudde empaka zino nga yazivugidde essaawa 1:51:26, n’addirirwa Sebuguzi (1:53:29), Duncan Mubiru (1:56:10). Christakis Fitidis yakutte kyakuna ate Ambrose Byona kyakutaano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...