TOP
  • Home
  • Rally
  • Kikankane atandise okwetegekera ez'Afrika

Kikankane atandise okwetegekera ez'Afrika

By Nicholas Kalyango

Added 10th March 2017

OMUVUZI w’emmotoka z’empaka, Duncan Mubiru ‘Kikankane’ atandise okuwawula ebyuma bye nga yeetegekera empaka za Safari Rally ezigenda okukola nga lawundi eyookubiri ku kalenda y’engule y’Afrika ku wiikendi ya March 17-19 e Kenya.

Duncan 703x422

Duncan Mubiru (mu katono) ng'afuumuula mmotoka ye mu mpaka ezaabadde e Kabale wiikendi ewedde. EKIF: NICHOLAS KALYANGO

Mubiru eyawangudde empaka z’e Kabale ku wiikendi ewedde, okutendekebwa akukolera Busiika gy’agenda buli kawungeezi. Awera ku komawo na buwanguzi okuva e Kenya.

“ Ngezaako okulaba mmotoka ki enankolera obulungi ku Subaru N16 ne Mitsubishi Evo 10 nga ngenze e Kenya. Buli lwaggulo nfunamu obudde ne ntedekebwamu ku ttaka eryefaananyiriza ery’e Kenya,” Mubiru bwe yagambye.

Mubiru yasemba ekwetaba mu mpaka za Safari Rally mu 2014 nga ku mulundi ogwo yakwata kyamukaaga. 

Bannayuganda abalala bataano be bakakasizza okwegatta ku Mubiru mu mpaka zino. Bano bagenda kuvuganya ku ngule y’Afrika omwaka guno.

Ttiimu ya Uganda ekulembeddwaamu nnantameggwa w’eggwanga,  Jas Mangat,  ng’ono yakwata kyakubiri ku ngule y’Afrika mu 2013.

Mu balala mulimu; Hassan Alwi, Yassin Nasser, Abdu Ssempebwa, Christakis Fitidis.

Uganda yakoma okuwangula engule y’afrika mu 1999 ng’eyita mu Charles Muhangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....

Panta 220x290

Gavumenti ereeta amateeka amakakali...

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga...

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...