TOP

Ssekisambi ne Nkuubi aba Vipers bassuuse obuvune

By Musasi wa Bukedde

Added 14th March 2017

Ssekisambi ne Nkuubi aba Vipers bassuuse obuvune

Vi1 560x315

Issa Ssekisambu ku kkono eyawonye obuvune

OMUTENDESI wa Vipers, Miguel Da Costa afunye ku buweerero, oluvannyuma lw’obazannyi be babiri okuwona obuvune bwe baafuna nga battunka ne Platinum Stars mu gw’oluzannya olusooka e Kitende wiikendi ewedde mu CAF Confederations Cup.

Omupiira guno Viper yaguwangula 1-0 kyokka Erisa Ssekisambu ne Brian Nkuubi baafulumizibwa  nga bafunye obuvune ekibadde kitadde  Vipers ku puleesa mu kaseera nga balina ennaku nya zokka badding’ana ne Platinum Stars e South Afrika.

Vipers okuyitawo yetaaga kulemagana kwonna kyokka obuvune bwa Sekisambu en Nkuubi abaatandika ogwasooka bubadde butiisiza abakungu ba ttiimu eno.

Omusawo wa ttiimu eno Mike Lule agambye nti kati Sekisambu ne Nkuubi bali mu mbeera nnungi okuzannya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gala 220x290

Aba ManCity tebajulira Bravo

CLAUDI Bravo ayolekedde okuvundira ku katebe mu Man City oluvannyuma lw’Omubrazil Ederson, eyaakagulwa mu Benfica...

Gobwa1 220x290

Owa Leicester City akwatiddwa ku...

Leicester, eyawangula Premier mu sizoni ya 2015-16 efuumudde omutendesi Craig Shakespeare olw’okulemwa okulinnyisa...

Waga 220x290

Liverpool etimpudde Maribor ggoolo...

OMUTENDESI wa Liverpool, Jurgen Klopp atenderezza abazannyi be obuteesaasira nga bawuttula Maribor eya Slovenia...

Banga 220x290

'Real Madrid egule Harry Kane'...

EYALIKO Pulezidenti wa Real Madrid, Ramon Calderon awadde abakungu ba ttiimu eno amagezi, okugula Harry Kane okumuggya...

Pala 220x290

Engeri gy’osaggula omukwano mu...

ABASAJJA bangi mulemwa okusaggula obuwoomi bw‛akaboozi ate ne mwekwasa ng‛abakazi bwe batabacamudde, so ng‛ensobi...