TOP
  • Home
  • Rally
  • Jas Mangat avudde mu za 'Safari Rally' e Kenya

Jas Mangat avudde mu za 'Safari Rally' e Kenya

By Nicholas Kalyango

Added 15th March 2017

WADDE nga nnantameggwa wa Uganda mu muzannyo gw'emmotoka, Jas Mangat, abadde akakasizza okwetaba mu mpaka za laawundi eyookubiri ku ngule y'Afrika eza 'Safari Rally', azivuddemu.

Mangat 703x422

Mangat ng'ava mu kyuma kye

Mangat, yeewandiisa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde era n'awera nga bw'agenda okuwangulira Uganda engule gy'erudde okuwangula.

Wabula okusinziira ku Joseph Kamya (amusomera maapu), emmotoka yaabwe yagaanyi okuteerera ate nga babadde balina okwolekera Kenya leero (ku Lwakusatu).

Mu mpaka za laawundi eyookubiri ku ngule ya Uganda (NRC), ezaabadde e Kabale Mangat era teyazeetabyemu nga kirowoozebwa nti yabadde ategeka mmotoka ye etuukane n’omutindo okuvuganya ne Bannakenya mu za Safari. 

Uganda, kati esigazza abavuzi bataano abagenda okuvuganya mu mpaka zino nga kuno kuliko; Duncan Mubiru, Christakis Fitidis, Abdu Ssempebwa, Hassan Alwi ne Yassin Nasser.

Empaka za Safari Rally zitandika Lwakutaano luno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...