TOP

Massa awummudde okuzannyira Cranes

By Stephen Mayamba

Added 30th March 2017

GEOFREY Massa, abadde kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ‘The Uganda Cranes’ eyagitwala mu mpaka z’omupiira gwa Africa ez’akamalirizo eza AFCON 2017 oluvannyuma lw’emyaka 39 alangiriridde nga bw'anyuse okuzannyira ttiimu y’eggwanga.

Wummula 703x422

Geofrey Massa abadde kapiteeni wa Cranes ng'akulembedde ttiimu okufuluma akasengebwe yali egenda okuttunka ne Ghana mu mpaka za AFCON e Gabon. (STEPHEN MAYAMBA)

GEOFREY Massa, abadde kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira  ‘The Uganda Cranes’ eyagitwala mu mpaka z’omupiira gwa Africa ez’akamalirizo eza AFCON 2017 oluvannyuma lw’emyaka 39 alangiriridde nga bw'anyuse okuzannyira ttiimu y’eggwanga.

Massa okusalawo kwe akutegeezezza pulezidenti wa FUFA Moses Magogo mu bbaluwa gyamukwasiza olwaleero ku kitebe kya FUFA e Mengo.

Mu bbaluwa Massa ategeezezza nga bweyenyumiririza ennyo mu bbanga ery’emyaka 12 gyamazze ng’asambira Cranes okusingira ddala okugidduumira mu mpaka za AFCON ezabadde e Gabon ku ntandikwa y’omwaka guno era neyebaza abawagizi abamwagadde mu bbanga lino nabasaba okugenda mu maaso nga bawagira Cranes gyagambye nti esigadde nnungi kubanga abazannyi balesemu abeesiga era abakiririzamu.

Omwogezi wa FUFA Ahmed Hussein yategeezezza nti FUFA egenda kutegekera Massa omupiira ogumusibula mu kitiibwa kye nga kapiteeni wa Cranes n’okumusiima olw’ebirungi byagikoledde era bagende mu maaso okumuyamba okuzimba obulamu bwe mu kuddukanya oba okusoma obutendesi okusinziira ku ki kyanaba asazewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe