TOP

KCCA FC esiitaanye okuwangula Bright Stars

By Stephen Mayamba

Added 5th April 2017

OMUTENDESI wa KCCA FC Mike Mutebi asuubiza nga bw'agenda okukola ennyo mu nnaku ezisigaddeyo okulaba ng'abazannyi be balinnyisa omutindo.

Kcca11 703x422

Mike Mutebi omutendesi wa KCCA FC (ku kkono) ng'ayogera n'abawuwuttannyi; Isaac Kirabira ne Tom Masiko bwe baabadde bazannya Bright Stars gye bakubye 2-1. (STEPHEN MAYAMBA)

KCCA FC 2-1 Bright Stars

OMUTENDESI wa KCCA FC Mike Mutebi asuubiza nga bw'agenda okukola ennyo mu nnaku ezisigaddeyo okulaba ng'abazannyi be balinnyisa omutindo.

KCCA FC eggulo yasiitaanye okuwangula Bright Stars ku ggoolo 2-1 mu gwa liigi ogwazannyiddwa e Lugogo ku kisaawe kya Philip Omondi Stadium ku Lwokubiri nga April 4.

Ku Lwomukaaga luno ekyaza kirabu ya El Masry eya Misiri mu mpaka z’olukalu lwa Africa eza CAF Confederations Cup.

Oluvannyuma lw’omupiira Mutebi yategeezezza nti naye teyabadde mumativu n’omutindo abamu ku bazannyi be gwe baayoleseza era n'asuubiza okubakolamu omulimu bagulinnyise.

Agamba nti nga bazannya El Masry, beetaaga okuteebamu waakiri ggoolo okubawa enkizo nga tebannazannya gwa kudding'ana wiiki ejja mu kibuga Port Said e Misiri.

Obuwanguzi bwayambye KCCA FC okukendeeza ku bubonero obuna SC Villa ekulembedde bw'ebadde ebasinga ne kasigala kamu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.